Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n'ayogera nti
2Singa mbadde nga bwe nnali mu myezi egyayita, Nga bwe nnali mu nnaku Katonda ze yandabirirangamu;
3Ettabaaza ye lwe yayakiranga omutwe gwange, N'omusana gwe gwe gwantambuzanga okuyita mu kizikiza;
4Nga bwe nnali ennaku zange nga zengedde, Ekyama kya Katonda bwe kyabanga ku weema yange;
5Omuyinza w'ebintu byonna bwe yali ng'akyali nange, N'abaana bange nga bakyanneetoolodde;
6Ebigere byange bwe byanaazibwanga n'omuzigo, N'olwazi bwe lwanfuukira emigga egy'amafuta!
7Bwe nnafulumanga ne ŋŋenda eri omulyango mu kibuga, Bwe nnategekanga entebe yange mu luguudo,
8Abalenzi bandabanga ne beekweka, Abakadde ne bayimukanga ne bayimirira;
9Abakungu ne balekanga okwogera, Ne bateeka omukono gwabwe kamwa kaabwe;
10Eddoboozi ery'abakulu ne lisirika, Olulimi lwabwe ne lwegatta n'ekibuno ky'akamwa kaabwe.
11Kubanga okutu bwe kwampuliranga ne kulyoka kunneebaza; Era eriiso bwe lyandabanga ne liba mujulirwa wange:
12Kubanga nawonyanga omwavu eyakaaba, Era n'atalina kitaawe eyabulwa ow'okumuyamba.
13Omukisa gwanjijira oyo gwe yansabira eyali ayagala okuzikirira: Ne nnyimbisa olw'essanyu omutima gwa nnamwandu.
14Nayambala obutuukirivu ne bumbikkako: Obutalya nsonga bwange ne buba ng'omunagiro n'engule.
15Nabanga amaaso eri omuzibe, Era nabanga ebigere eri awenyera.
16Nabanga kitaabwe abeetaaga: Era nakeberanga ensonga y'oyo gwe ssaamanya.
17Era namenyanga atali mutuukirivu oluba, Ne nsika omuyiggo ne nguggya mu mannyo ge,
18Kale ne njogera nti Ndifiira mu kisu kyange, Era naayongeranga ennaku zange ng'omusenyu:
19Emmizi gyange giranze eri amazzi, N'omusulo gubeera ku ttabi lyange ne gukeesa obudde:
20Ekitiibwa kyange kiggya gye ndi, N'omutego gwange guzzibbwa buggya mu mukono gwange.
21Nze abantu bampulirizanga ne balinda, Ne basirikira okuteesa kwange.
22Nga ndeese ebigambo bo ne batayogera nate; Okwogera kwange ne kubagwako.
23Era bannindirira nga bwe balindirira enkuba; Era bayasama nnyo akamwa kaabwe ng'abayasamira enkuba eya ttoggo.
24Bwe nnabasekeranga ne batakkiriza; N'omusana gw'amaaso gange tebaagusuula.
25Neerobozanga ekkubo lyabwe ne ntuula ng'omukulu, Ne mbeera nga kabaka mu ggye, Ng'omuntu akubagiza abakungubaga.