Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Mazima waliwo gye basimira ffeeza, N'ekifo kya zaabu gye balongoosa.
2Ekyuma kiggibwa mu ttaka, N'ekikomo bakisaanuusa okukiggya mu jjinja.
3Abantu babibira ekizikiza, Ne bakenneenya okutuuka ku nsalo ekomererayo, Amayinja ag'ekizikiza ekikutte n'ag'ekisiikirize eky'okufa.
4Basima obunnya obuli ewala n'abantu we batuula; Beerabirwa ekigere ekiyitawo: Balengejjera wala n'abantu, bawuubibwawuubibwa eruuyi n'eruuyi.
5Ensi ye evaamu emmere: Era wansi evuunikibwa ng'ekivuunikibwa n'omuliro.
6Amayinja gaayo kifo kya safiro, Era erina enfuufu eya zaabu.
7Ekkubo eryo tewali nnyonyi eyigga erimanyi, So n'amaaso ga kamunyi tegalirabanga.
8Ensolo ezaamalala teziririnnyangamu, So n'empologoma enkambwe teriyitangamu.
9Agolola omukono gwe ku jjinja ery'embaalebaale; Avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
10Atema ensalosalo mu njazi; N'amaaso ge galaba buli kintu eky'omuwendo omungi.
11Asiba emigga gireme okukulukuta; N'ekigambo ekyakisibwa akireeta awalaba.
12Naye amagezi ganaalabikanga wa? N'ekifo eky'okutegeera we kubeera kiri ludda wa?
13Abantu tebamanyi muwendo gwago; So tegalabika mu nsi ey'abalamu.
14Obuziba bwogera nti Tegali mu nze: N'ennyanja eyogera nti Tegali we ndi.
15Tegafunika lwa zaabu, So ne ffeeza teripimibwa okugagula.
16Tegayinzika kwenkanyankanyizibwa ne zaabu eya Ofiri, Ne onuku ey'omuwendo omungi oba safiro.
17Zaabu n'endabirwamu tebiyinza kugenkana: So n'amakula aga zaabu ennungi tegaabenga buguzi bwago.
18Tebaayogerenga ku kolali n'amayinja ag'endabirwamu: Weewaawo, omuwendo ogw'amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19Topazi eriva e Buwesiyopya teriigenkanenga, So tegenkanyankanyizibwenga ne zaabu ennungi.
20Kale amagezi gava wa? N'ekifo okutegeera we kubeera kiri ludda wa?
21Kubanga gakwekebwa amaaso g'abalamu bonna, Era gakisibwa ennyonyi ez'omu bbanga.
22Okuzikirira n'Okufa kwogera nti Twawulira ekigambo kyago n'amatu gaffe.
23Katonda ategeera ekkubo lyago, Era ye amanyi ekifo kyago.
24Kubanga atunuulira okutuuka ku nkomerero z'ensi, Era alaba ebiri wansi w'eggulu lyonna;
25Okukolera empewo ekigera; Weewaawo, apima amazzi n'ekipima.
26Bwe yateekera enkuba etteeka, N'ekkubo ery'okumyansa okw'okubwatuka:
27Awo n'alyoka agalaba n'agabuulira; Yaganyweza, weewaawo, n'agakenneenyeza ddala.
28Era n'agamba abantu nti Laba, okutya Mukama okwo ge magezi; N'okuleka obubi kwe kutegeera.