Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n’ayogera nti
2Nga Katonda bw'ali omulamu alidde ensonga yange; Era Omuyinza w'ebintu byonna, eyeeraliikiriza emmeeme yange;
3(Kubanga obulamu bwange bukyali bulamba mu nze, n'omwoyo gwa Katonda guli mu nnyindo zange;)
4Mazima emimwa gyange tegyogere butali butuukirivu, So n'olulimi lwange terwatule bulimba.
5Katonda akiddize eri nze okubawa obutuukirivu: Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange.
6Obutuukirivu bwange mbunyweza so ssiibutenga: Omutima gwange tegunnenyenga nga nkyali mulamu.
7Omulabe wange abe ng'omubi. N'oyo angolokokerako abe ng'atali mutuukirivu.
8Kubanga essuubi ly'atamanyi Katonda kye ki, newakubadde nga yeefunira amagoba, Katonda bw'aggyawo obulamu bwe?
9Katonda anaawuliranga okukaaba kwe, Ennaku bwe zinaamutuukangako?
10Anaasanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, N'akaabira Katonda mu biro byonna?
11N'abayigiriza eby'omukono gwa Katonda; Ekiri n'Omuyinza w'ebintu byonna ssiikikweke.
12Laba, mmwe mwenna mmwe bennyini mukirabye; Kale kiki ekyabafuulira ddala abataliiko kye mugasa?
13Guno gwe mugabo gw'omuntu omubi eri Katonda, N'obusika, bw'abajoozi bwe baweebwa Omuyinza w'ebintu byonna.
14Abaana be bwe beeyongera, beeyongerera ekitala; N'enda ye terikkuta mmere.
15Abanaasigalangawo ku ye banaaziikibwanga mu kufa, ne bannamwandu be tebaakungubagenga.
16Newakubadde ng'atuuma ffeeza ng'enfuufu, n'ategeka ebyambalo ng'ettaka;
17Okutegeka ayinza okubitegeka, naye omutuukirivu ye alikyambala, Era ataliiko musango ye aligabana ffeeza.
18Azimba ennyumba ye ng'ekiwojjolo, Era ng'ensiisira omukuumi gy'akola.
19Agalamira nga mugagga, naye taakungulwenga; Azibula amaaso, kale nga takyaliwo.
20Ebitiisa bimukwata ng'amazzi; Kibuyaga amutwala kyama kiro.
21Embuyaga ez'ebuvanjuba zimutwalira ddala n'agenda; Ne zimuggya mu kifo kye lwa maanyi.
22Kubanga Katonda alimukasuukirira n'atasaasira: Yandyagadde okudduka mu mukono gwe.
23Abantu balimukubira mu ngalo, Era balimusooza ave mu kifo kye.