Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2Atalina buyinza ng'omubedde so! Omukono ogutalina maanyi ng'ogulokodde so!
3Atalina magezi ng’omuweeredde so, N'oyatula bingi nnyo eby'okutegeera obulungi!
4Ani gw'obuulidde ebigambo? N'omwoyo gwani oguvudde mu ggwe?
5Abaafa bakankana wansi w'amazzi n'ababeera omwo.
6Amagombe gali bwereere mu maaso ge, N'okuzikirira tekulina kye kwebikka.
7Abamba obukiika obwa kkono mu bbanga ejjereere, Era awanika ensi awatali kintu.
8Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu; Ekire ne kitayulika wansi we.
9Aziba obwenyi bw'entebe ye, N'agyaliirako ekire kye.
10Yassaawo embibi ku maaso g'amazzi, Okutuusa omusana n'ekizikiza we bikoma.
11Empagi ez'eggulu zikankana ne zeewuunya olw'okunenya kwe.
12Afuukuula ennyanja olw'obuyinza bwe, Era afumitira ddala Lakabu olw'okutegeera kwe.
13Eggulu liyonjebwa olw'omwoyo gwe; Omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14Laba, gano ge mabbali gokka ag'amakubo ge: N'akagambo ke tumuwulirako nga katono! Naye okubwatuka okw'obuyinza bwe ani ayinza okukutegeera?