Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
6 verses
1Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2Okufuga n'entiisa biri naye; Aleeta emirembe mu bifo bye ebigulumivu.
3Eggye lye liriko gye likoma? Era ani ataviirwayo omusana gwe?
4Kale omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda? Oba ayinza atya okuba omulongoofu oyo azaalibwa omukazi?
5Laba, n'omwezi tegulina kumasamasa, N'emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge:
6Okusinga ennyo omuntu, envunyu! N'omwana w'omuntu, olusiriŋŋanyi!