Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Omuyinza w'ebintu byonna kiki ekimulobera okutereka ebiro? N'abo abamumanyi kiki ekibalobera okulaba ennaku ze?
2Wabaawo abajjulula obubonero bw'ensalo; Banyaga embuzi lwa maanyi ne baziriisa.
3Bagoba endogoyi ey'abatalina kitaabwe, Batwala ente ya nnamwandu okuba omusingo.
4Bakyamya abeetaaga mu kkubo: Abaavu ab'omu nsi beekweka wamu.
5Laba, ng'entulege mu ddungu Bafuluma eri omulimu gwabwe nga banoonyeza ddala eby'okulya; Ensiko ebawa emmere ya baana baabwe.
6Basala emmere ey'ensolo zaabwe mu ttale; Era banoga ezabbibu ez'omubi.
7Basula ne bakeesa obudde nga tebaliiko kye bambadde, So tebaliiko kye beebikka empewo nga zifuuwa.
8Batoba n'oluwandaggirize olw'oku nsozi, Era bavumbagira olwazi nga babuliddwa we beggama.
9Wabaawo abakwakula abatalina kitaabwe okubaggya ku mabeere, Ne baggya omusingo ku mwavu:
10N'okutambula ne batambula bwereere nga tebalina kye bambadde, Era enjala ng'ebalumye beetikka ebinywa;
11Bakamulira amafuta mu bisenge by'abasajja abo; Balinya amasogolero gaabwe ne balumwa ennyonta.
12Abantu basinda nga bali mu kibuga ekirimu abantu abangi, Emmeeme y'abo abafumitiddwa n'ekaaba: Naye Katonda takibala okuba obusirusiru.
13Abo bali ku muwendo gw'abo abajeemera omusana; Tebamanyi makubo gaagwo, So tebabeerera mu mpenda zaagwo.
14Omussi agolokokera wamu n'omusana, atta omwavu ne yeetaaga; Era ekiro aba ng'omubbi.
15Era n'eriiso ly'omwenzi lirindirira ekizikiza, Ng'ayogera nti Tewali liiso erinandaba: Ne yeefuula amaaso ge.
16Mu kizikiza mwe basimira ennyumba: Beggalira emisana; Tebamanyi musana.
17Kubanga obw'enkya buli ng'ekisiikirize eky'okufa eri abo bonna; Kubanga bamanyi ebitiisa eby'ekisiikirize eky'okufa.
18Aba wa mbiro ng'amazzi; Omugabo gwabwe gukolimiddwa ku nsi: Takyukira awali ekkubo ery'ensuku z'emizabbibu.
19Ekyeya n'ebbugumu bimalawo amazzi agava mu muzira: N'amagombe bwe gatyo gamalawo abo abayonoona.
20Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga ng'ewoomeddwa; Tajjukirwenga nate: Kale obutali butuukirivu bunaamenyekanga ng'omuti.
21Alya omugumba atazaala; So takola nnamwandu bulungi.
22Era awalula n'ab'amaanyi olw'obuyinza bwe: Ayimuka, so tewali muntu asuubira okuba omulamu.
23Katonda abawa okuba emirembe, ne beesigama okwo; N'amaaso ge gali ku makubo gaabwe.
24Bagulumizibwa; ne wayitawo ebbanga ttono nga bagenze; Weewaawo, bakkakkanyizibwa, baggibwa mu kkubo ng'abalala bonna, Era basalibwa ng'emitwe gy'ebirimba by'eŋŋaano.
25Era oba nga si bwe kiri kaakano, ani anannumiriza nga ndi mulimba, N'afuula okwogera kwange obutabaako kye kugasa?