Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2Ne leero okwemulugunya kwange kujeemu: Okukubibwa kwange kusinga okusinda kwange obuzito.
3Singa mmanyi gye nnyinza okumulabira, Singa nnyinza okutuuka n'awali entebe ye!
4Nandiriraanyizza ensonga yange mu maaso ge, Ne njijuza akamwa kange ensonga.
5Nandimanye ebigambo bye yandinzizeemu, Ne ntegeera bye yandiŋŋambye.
6Yandinnyombesezza olw'obukulu bw'obuyinza bwe? Nedda, naye yandinzisizzaako omwoyo.
7Eyo ab'amazima bandiyinzizza okuwoza naye; Bwe nnandiwonyezebbwa bwe ntyo ennaku zonna eri omulamuzi wange.
8Laba, ntambula mu maaso, naye ye nga taliiyo; Ne ntambula ennyuma, naye ne ssiyinza kumulaba:
9Ku mukono ogwa kkono, bw'akola omulimu, naye ne ssiyinza kumulaba: Yeekweka ku mukono ogwa ddyo n'okulaba ne ssiyinza kumulaba:
10Naye amanyi ekkubo lye nkwata; Bw'alimala okunkema, ndivaamu nga zaabu.
11Okugulu kwange kwasimbira ddala mu bigere bye; Ekkubo lye nalikwata ne ssikyama.
12Siddanga nnyuma okuva mu kiragiro eky'emimwa gye; Natereka ebigambo eby'akamwa ke okusinga emmere yange eŋŋwanira.
13Naye ye alowooza bumu, era ani ayinza okumukyusa? Era emmeeme ye kye yeegomba ekyo ky'akola.
14Kubanga atuukiriza ekyo ekyanteekerwawo: N'ebingi ebiri bwe bityo biri naye.
15Kyenva neeraliikirira ye okubaawo; Bwe ndowooza mmutya.
16Kubanga Katonda azirisiza omutima gwange. Era Omuyinza w'ebintu byonna anteganyizza:
17Kubanga saazikirizibwa okusooka ekizikiza, So teyabikka ku kizikiza ekikutte eri amaaso gange.