Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
30 verses
1Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti
2Omuntu ayinza okugasa Katonda? Mazima ow'amagezi yeegasa yekka.
3Kiriko bwe kisanyusa Omuyinza w'ebintu byonna ggwe okubeera omutuukirivu? Oba kimugasa ggwe okutuukiriza amakubo go?
4Kubanga omutya kyava akunenya, Kyava asala omusango gwo?
5Obubi bwo si bungi? So n'obutali butuukirivu bwo tebuliiko gye bukoma.
6Kubanga waggya ku muganda wo emisingo egy'obwereere, N'oyambula abaali obwereere ebyambalo byabwe.
7Tonywesanga mazzi omukoowu, Era wamma omuyala emmere.
8Naye ow'amaanyi ye yalya ensi; N'ow'ekitiibwa ye yagibeeramu.
9Wasindika bannammwandu nga tebalina kintu, N'emikono gy'abatalina kitaabwe gyamenyeka.
10Obukunizo kyebuva bukwetooloola, N'entiisa gy'otomanyiridde ekweraliikiriza,
11Oba ekizikiza n'otoyinza kulaba, Amazzi amangi ne gakubikkako.
12Katonda tali mu ggulu awagulumizibwa? Era laba emmunyeenye bwe zenkana obugulumivu!
13Naawe oyogera nti Katonda amanyi ki? Ayinza okusala omusango ng'ayima mu kizikiza ekikutte?
14Ebire ebiziyivu bimubikkako n'okulaba talaba; Era atambulira mu kwekulungirira kw'eggulu.
15Oyagala okukwata ekkubo ery'edda Abantu ababi lye baalinnyirangamu?
16Abaakwakulibwa entuuko zaabwe nga tezinnabaawo, Omusingi gwabwe ne gufukibwa ng'omugga:
17Abaagambanga Katonda nti Tuveeko: Era nti Omuyinza w'ebintu byonna ayinza kutukolera ki?
18Naye yajjuza ennyumba zaabwe ebirungi: Naye okuteesa kw'ababi kundi wala.
19Abatuukirivu bakiraba ne basanyuka; N'ataliiko musango abasekerera nnyo:
20Ng'ayogera nti Mazima abo abaatugolokokerako bamaliddwawo, N'abo abafisseewo omuliro gubookezza.
21Yiga nno obeere n'emirembe: Bw'otyo bw'onoobanga n'ebirungi.
22Nkwegayiridde, kkiriza amateeka eri akamwa ke, Era tereka ebigambo bye mu mutima gwo.
23Bw'onookomangawo eri Omuyinza w'ebintu byonna, onoozimbibwanga; Bw'onoggyangawo obutali butuukirivu okuba ewala n'eweema zo.
24N'oteeka ebibyo eby'obugagga mu nfuufu, Ne zaabu eya Ofiri mu mayinja ag'omu bugga;
25Kale Omuyinza w'ebintu byonna ye anaabanga obugagga bwo, Era anaabanga ffeeza ya muwendo mungi gy'oli.
26Kubanga lw'onoosanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda.
27Onoosabanga okusaba kwo eri ye, naye anaakuwuliranga; Era onoosasulanga obweyamo bwo.
28Era onoolagiranga ekigambo ne kinywera gy'oli; N'omusana gunaayakiranga amakubo go.
29Bwe bakusuula, onooyogeranga nti Waliwo okuyimusibwa; Era anaalokolanga eyeetoowaza.
30Anaawonyanga n'oyo aba taliiko musango: Weewaawo, anaawonyezebwanga olw'obulongoofu bw'engalo zo.