Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
34 verses
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2Muwulire nnyo okwogera kwange; Era bino bibeere bya kubasanyusa.
3Munzikirize, nange naayogera; Kale nga mmaze okwogera, mweyongere okuduula.
4Nze neemulugunya eri abantu? Era ekyandindobedde okwesunaasuna kiki?
5Munziseeko omwoyo, mwewuunye, Era muteeke omukono gwammwe ku kamwa kammwe.
6Bwe njijukira obujjukizi neeraliikirira, Okwesisiwala ne kukwata omubiri gwange.
7Ababi babeerera ki abalamu, Ne bakaddiwa ne baba ba maanyi mu buyinza?
8Ezzadde lyabwe linywera gye bali bo nga balaba, N'enda yaabwe mu maaso gaabwe.
9Ennyumba zaabwe ziba mirembe awatali kutya, So n'omuggo gwa Katonda tegubabaako,
10Ente yaabwe ennume ezaala n'eteddirira; Ente yaabwe enkazi ezaala n'etesowola mwana gwayo.
11Basindika abaana baabwe abato ng'ekisibo, N'abaana baabwe bazina.
12Bayimbira ku bitaasa n'ennanga, Ne basanyukira eddoboozi ly'omulere.
13Bamala ennaku zaabwe nga balabye omukisa, Mu kaseera ne bakka mu magombe.
14Era naye ne bagamba Katonda nti Tuveeko; Kubanga tetwegomba kumanya makubo go.
15Omuyinza w'ebintu byonna kye ki, ffe tumuweereze? Era bwe tunaamusabanga kinaatugasanga kitya?
16Laba, omukisa gwabwe teguli mu mukono gwabwe: Okuteesa kw'ababi kundi wala.
17Ettabaaza y'ababi ezikizibwa emirundi emeka? N'obuyinike bwabwe bubatuukako emirundi emeka? Katonda agaba ennaku mu busungu bwe emirundi emeka?
18Baba ng'ebisasiro ebitwalibwa n'empewo, Era ng'ebisusunku embuyaga bye zitwala emirundi emeka?
19Mwogera nti Katonda aterekera abaana be obutali butuukirivu bwe. Abasasule ye yennyini abumanye.
20Amaaso ge galabe okuzikirira kwe ye, Era anywe ku busungu bw'Omuyinza w'ebintu byonna.
21Kubanga asanyukira atya ennyumba ye emuddirira, Omuwendo gw'emyezi gye nga gukutuse wakati?
22Waliwo anaayigirizanga Katonda okumanya? Kubanga asalira abo omusango abagulumizibwa.
23Wabaawo omu afa ng'alina amaanyi ge gonna, Ng'aweereddeweeredde ddala ng'ateredde:
24Amabeere ge gajjudde amata, N'obusomyo obw'amagumba ge nga bubisi.
25N'omulala afa omwoyo gwe nga gumubalagala, So taleganga ku birungi.
26Bombi bagalamira mu nfuufu, Envunyu n'ebabikkako.
27Laba, mmanyi ebirowoozo byammwe, N'enkwe ze munsalira obubi.
28Kubanga mwogera nti Ennyumba y'omukungu eri ludda wa? Era nti Eweema ababi mwe babeera eri ludda wa?
29Temwababuuza abatambulira mu kkubo? Era temumanyi bubonero bwabwe?
30Ng'omuntu omubi aterekerwa olunaku olw'okulabirako ennaku? Nga batwalibwa eri olunaku olw'obusungu?
31Ani anaabuuliranga ekkubo lye mu maaso ge? Era ani anaamusasulanga bye yakola?
32Naye anaatwalibwanga mu ntaana, Era anaakuumanga amalaalo.
33Amafunfugu ag'omu kiwonvu ganaamuwoomeranga, N'abantu bonna banaawalulwanga ennyuma we, Nga bwe baamukulembera abatabalika.
34Kale nno munsanyusiza mutya obwereere, Kubanga mu kuddamu kwammwe musigaddemu obulimba busa?