Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'ayogera nti
2Ebirowoozo byange kyebiva binziramu, Olw'okwanguyiriza okuli mu nze.
3Mpulidde okunenya okunswaza, Omwoyo ogw'okutegeera kwange ne gunziramu.
4Ekyo tokimanyi obw'edda, Omuntu kasookedde ateekebwa ku ttaka,
5Ng'okuwangula kw'ababi kwa kuggwaawo mangu, Era ng'essanyu ly'abatamanyi Katonda lya kiseera buseera?
6Obukulu bwe newakubadde nga bulinnya okutuuka mu ggulu, N'omutwe gwe gutuuka mu bire;
7Naye anaabulanga emirembe gyonna ng'empitambi ye ye: Abo abaamulabanga banaayogeranga nti Ali ludda wa?
8Anaavangawo ng'ekirooto, so taalabikenga: Weewaawo, anaagoberwanga ddala ng'okwolesebwa okw'ekiro.
9Eriiso eryamulabanga teriimulabenga nate; So n'ekifo kye tekiimutunuulirenga nate.
10Abaana be baneegonzanga eri abaavu, N'emikono gye ginaakomyangawo obugagga bwe.
11Amagumba ge gajjudde obuvubuka bwe, Naye bunaagalamiranga naye mu nfuufu.
12Obubi newakubadde nga bumuwoomera mu kamwa ke, Newakubadde ng'abukweka wansi w'olulimi lwe;
13Newakubadde ng'abusonyiwa n'ataganya kubuta, Naye ng'akyaguguba nabwo mu kamwa ke;
14Naye emmere ye mu byenda bye efuuse, Bwe busagwa bwe mbalasaasa munda ye.
15Yamira obugagga, era anaabusesemanga nate: Katonda anaabuggyanga mu lubuto lwe.
16Anaanuunanga obusagwa bw'embalasaasa: Olulimi lw'omusota lunaamuttanga.
17Taatunuulirenga migga, Emigga egikulukuta egy'omubisi gw'enjuki n'omuzigo.
18Kye yateganira anaakizzanga, so taakimirenga; So taasanyukenga ng'ebintu bwe biri by'afunye.
19Kubanga yajooga abaavu n'abaleka; Yaggyawo ennyumba olw'amaanyi so taagizimbenga.
20Kubanga teyamanya kutereera munda ye, Taawonyenga kintu ku ebyo by'asanyukira.
21Tewasigala kintu ky'atalya; Omukisa gwe kyegunaavanga gulema okuba ogw'olubeerera.
22Mu lufulube lw'ebintu bye ebisukkirira anaalabanga ennaku: Omukono gwa buli muntu aliko obuyinike gunaamutuukangako.
23Bw'aba ng'anaatera okukkusa olubuto lwe, Katonda anaamusuulangako ekiruyi kye ekingi, Era anaakitonnyesanga ku ye ng'alya.
24Anaddukanga ekyokulwanyisa eky'ekyuma, N'omutego ogw'ekikomo gunaamufumitanga.
25Aguggyamu ne guva mu mubiri gwe: Weewaawo, omumwa gwagwo ogumasamasa guva mu mususa gwe; Ebitiisa bimuliko.
26Ekizikiza kyonna kyaterekerwa ebibye eby'obugagga: Omuliro ogutakumibwa bantu gunaamwokyanga; Gunaamalangawo ebyo ebisigadde mu weema ye.
27Eggulu linaabikkulanga ku butali butuukirivu bwe, N'ensi eneemugolokokerangako.
28Ekyengera eky'omu nnyumba ye kinaavangawo, Ebintu bye binaabuliranga ku lunaku olw'obusungu bwe.
29Ogwo gwe mugabo gw'omuntu omubi oguva eri Katonda, N'obusika Katonda bwe yamuteekerawo.