Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2Mulituusa wa okweraliikiriza emmeeme yange, Ne mummeayamenya n'ebigambo?
3Mwakanvumira emirundi kkumi: Temukwatiddwa nsonyi okunzitoowerera.
4N'okukyama newakubadde nga nkyamye, Okukyama kwange kubeera nange mwene.
5Okwegulumiza oba nga muneegulumiza eri nze, Ne mundeetako ekivume kyange:
6Mutegeere nno nga Katonda ansudde mu nsonga yange, Era anzingizizza n'ekitimba kye.
7Laba, njogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye ne siwulirwa: Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa.
8Azibye ekkubo lyange n'okuyinza ne ssiyinza kuyitamu, Era atadde ekizikiza mu makubo gange.
9Anziyeeko ekitiibwa kyange, Era aggye engule ku mutwe gwange.
10Ammenyemenye enjuyi zonna, era ŋŋenze: N'essuubi lyange alisimbudde ng'omuti.
11Era abuubuusizza obusungu bwe ku nze, Era ampita omu ku balabe be gy'ali.
12Eggye lye litabaalira wamu, ne batuuma ekkubo lyabwe ku nze, Ne basiisira okuzingiza eweema yange.
13Baganda bange abantadde wala, N'abo be mmanyi bafuukidde ddala nga be ssimanyi:
14Ab'ekika kyange baweddewo, Ne mikwano gyange ennyo banneerabidde.
15Abo ababeera mu nnyumba yange n'abazaana bange bampita mugenyi: Ndi munnaggwanga mu maaso gaabwe.
16Mpita omuddu wange n'atanjitaba, Newakubadde nga mmwegayirira n'akamwa kange.
17Omukka gwange mukazi wange tagumanyi, N'okwegayirira kwange abaana b'enda ya mmange tebakumanyi:
18Era n'abaana abato bannyooma; Bwe nnyimuka banjogerako obubi.
19Emikwano gyange bonna be nteesa nabo bantamiddwa: N'abo be nnayagalanga bakyuse okuba abalabe bange.
20Eggumba lyange lyegatta n'eddiba lyange n'omubiri gwange, Era mponye n'eddiba ly'okumannyo gange.
21Munsaasire, munsaasire, ai mmwe mikwano gyange; Kubanga omukono gwa Katonda gunkomyeko.
22Kiki ekibanjigganyisa nga Katonda, So n'omubiri gwange tegubamala?
23Singa nno ebigambo byange biwandiikiddwa! Singa biwandiikiddwa mu kitabo!
24Singa byoleddwa ku lwazi N'ekkalaamu ey'ekyuma n'ekisasi okumala emirembe gyonna!
25Naye mmanyi nga Omununuzi wange aba mulamu, Era ku nkomerero ng'aliyimirira ku nsi:
26Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda:
27Gwe ndiraba nze mwene, N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala. Emmeeme yange emaliddwawo munda yange.
28Bwe munaayogera nti Nga tunaamuyigganya so! Kubanga ekikolo ky'ekigambo kirabise mu nze;
29Mutyenga ekitala: Kubanga obusungu buleeta okubonereza kw'ekitala. Mulyoke mumanye nga waliwo okusala omusango.