Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2Mulituusa wa okuteega ebigambo? Musooke okulowooza, ne tulyoka twogera.
3Ekituyisa ensolo kiki, Ne tufuuka abatali balongoofu mu maaso go?
4Ggwe eyeetaagula olw'obusungu bwo, Ensi erirekebwa ku lulwo? Oba olwazi luliggibwa mu kifo kyalwo?
5Weewaawo, omumuli gw'omubi gunaazikizibwanga, So n'olusasi olw'omuliro gwe terwakenga.
6Omumuli gunaabanga kizikiza mu weema ye, N'ettabaaza ye eri waggulu we eneezaamizibwanga.
7Ebigere eby'amaanyi ge binaafundikirwanga, N'okuteesa kwe ye kunaamusuulanga.
8Kubanga ebigere bye ye bimusudde mu kitimba, Era atambulira ku mutego.
9Ekyambika kinaamukwatanga ekisinziiro, N'akakunizo kinaamunywezanga.
10Akamasu kamukwekeddwa mu ttaka, N'ekigu kimukwekeddwa mu kkubo.
11Entiisa eneemukanga enjuyi zonna, Era eneemuyigganyanga ku bisinziiro bye.
12Amaanyi ge ganaalumwanga enjala, N'obuyinike bunaamubangako ng'asejjera.
13Bunaalyanga ebitundu by'omubiri gwe, Weewaawo, omubereberye w'okufa anaalyanga ebitundu bye.
14Anaasimbulwanga mu weema ye gye yeesiga; Era anaaleetebwanga eri kabaka w'ebitiisa.
15Ekitali kikye n'akatono kinaabanga mu weema ye: Ekibiriiti kinaamansirwanga ku kifo mwe yabeeranga,
16Ekikolo kye kinaakaliranga ddala wansi, Ne waggulu ettabi lye linaatemebwangawo.
17Ekijjukizo kye kinaabulanga ku nsi, So taabenga na linnya mu luguudo.
18Anaagoberwanga mu kizikiza okuva mu musana, Era anaayigganyizibwanga okuva mu nsi.
19Taabenga na mwana newakubadde omuzzukulu mu bantu be, Newakubadde omuntu yenna asigadde gye yabeeranga.
20Abanaddangawo baneewuunyanga olunaku lwe, Ng'abo abaasooka bwe baatiisibwa.
21Mazima ennyumba z'atali mutuukirivu bwe zifaanana bwe zityo, Era kino kye kifo ky'oyo atamanyi Katonda.