Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
16 verses
1Omwoyo gwange gumalibwawo, ennaku zange ziwedde, Entaana enneeteekeddeteekedde.
2Mazima waliwo abakudaazi gye ndi, N'eriiso lyange libeera mu kusosonkereza kwabwe.
3Leeta nno akakalu, onneeyimirire gy'oli wekka; Waliwo ani anaakwatagana nange mu mukono?
4Kubanga okisizza omutima gwabwe obutategeera: Kyonoovanga olema okubagulumiza.
5Oyo aloopa mikwano gye okuba omuyiggo, Era n'amaaso g'abaana be galiggwaawo.
6Era anfudde ekigambo eky'obuwemu mu bantu; Era nfuuse ekyenyinyalwa mu lwatu.
7Era n'eriiso lyange lizibye olw'okunakuwala, N'ebitundu byange byonna biri ng'ekisiikirize.
8Abantu ab'amazima banaakungubazanga ekyo, N'ataliiko musango aneegolokosanga ku oyo atatya Katonda.
9Era naye omutuukirivu anaakwatanga ekkubo lye, N'oyo alina emikono emirongoofu aneeyongerayongeranga okuba n'amaanyi,
10Naye mukomeewo mwenna, mujje nno: So ssiirabe muntu wa magezi ku mmwe.
11Ennaku zange ziwedde, okuteesa kwange kukutuddwa, Era n'okulowooza okw'omu mutima gwange.
12Bafuusa ekiro okuba omusana: Omusana guliraana ekizikiza, bwe boogera bwe batyo.
13Bwe nsuubira amagombe okuba ennyumba yange: Oba nga neeyaliiridde ekitanda kyange mu kizikiza;
14Oba nga ŋŋambye okuvunda nti Ggwe kitange; N'envunyu nti Ggwe mmange era mwannyinaze;
15Kale essuubi lyange liri ludda wa? N'essuubi lyange aliriraba ani?
16Lirikka mu bisiba eby'amagombe, Okuwummula nga kumaze okubaawo omulundi gumu mu nfuufu.