Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti Mpulirizza bingi ebiri bwe bityo:
2Mwenna muli basanyusa abatagasa.
3Ebigambo ebitaliimu binaakoma? Oba kiki ekikusosonkereza n'okwanukula n'oyanukula?
4Era nange nandiyinzizza okwogera nga mmwe bwe mwogera; Emmeeme yammwe singa ebadde mu kifo ky'emmeeme yange, Nandiyinzizza okutunga ebigambo okubanenya, N'okubanyeenyereza omutwe gwange.
5Naye nandibawadde amaanyi n'akamwa kange, N'okusanyusa kw'emimwa gyange kwandikkakkanyizza obuyinike bwammwe.
6Newakubadde nga njogera, obuyinike bwange tebunnakkakkana: Era newakubadde nga nzibiikiriza, mpummuzibwa ntya?
7Naye kaakano ankooyezza: N'ekibiina kyange kyonna okizisizza.
8Era onkwatidde ddala, ye mujulirwa gye ndi: N'obukovvu bwange bungolokokerako, bunnumiriza mu maaso gange.
9Antaagudde n'ekiruyi kye, anjigganyizza; Era annumidde obujugu: Omulabe wange ankanulira amaaso.
10Banjasamidde akamwa kaabwe; Bankubye empi nga banswaza: Bankuŋŋaanirako.
11Katonda angabula eri atatya Katonda, Era ansuula mu mikono gy'ababi.
12Nali mpeeraweera n'anjasaamu wakati; Weewaawo, yankwata mu nsingo n'antandaggira okummenyamenya: Era ansimbye okuba sabbaawa ye.
13Abalasi be banzingizza enjuyi zonna, Ayasaamu ensigo zange so tasonyiwa; Afuka omususa gwange ku ttaka.
14Agenda yeeyongera okummenyamenya; Anfubutukirako ng'omuzira.
15Ntunze ebibukutu ku ddiba lyange, Era ntadde ejjembe lyange mu nfuufu.
16Amaaso gange goonoonese olw'okukaaba amaziga, Ne ku bikowe byange kuliko ekisiikirize ky'okufa;
17Newakubadde nga temuli kyejo mu ngalo zange, N'okusaba kwange kulongoofu.
18Ai ensi, tobikka ku musaayi gwange, N'okukaaba kwange kuleme okubaako we kuliwummulira.
19Ne kaakano, laba, omujulirwa wange ali mu ggulu, N'omuyima wange ali waggulu.
20Mikwano gyange bannyooma: Naye eriiso lyange lifuuka amaziga eri Katonda;
21Azibire ensonga y'omuntu eri Katonda, N'ey'omwana w'omuntu eri munne.
22Kubanga emyaka si mingi bwe giriggwaako, Nditambula olugendo gye ssiriva okukomawo.