Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
35 verses
1Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti
2Ow'amagezi yandizzeemu n'okumanya okutaliimu, N'ajjuza olubuto lwe n'embuyaga ez'ebuvanjuba?
3Yandiwakanye n'ebigambo ebitaliiko kye bigasa, Oba ng'ayogera ebitaliiko kye biyinza?
4Weewaawo, omalawo okutya, Era oziyiza okwagala Katonda mu maaso ge.
5Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, Era weeroboza olulimi lw'abagerengetanya.
6Akamwa ko ggwe ke kakusalira omusango okukusinga so si nze; Weewaawo, emimwa gyo ggwe ye mujulirwa eri ggwe.
7Ggwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe baakuzaala ensozi nga tezinnabaawo?
8Wali owulidde okuteesa kwa Katonda okw'omu kyama? Era weeyita wa magezi wekka omu?
9Kiki ky'omanyi ffe kye tutamanyi? Kiki ky'otegeera ekitali mu ffe?
10Abameze envi n'abakadde ennyo bali wamu naffe, Abasinga ennyo kitaawo obukadde.
11Okusanyusa kwa Katonda kutono, tekukumala, N'ekigambo ekyogera naawe empola?
12Omutima gwo gukutwalira ki? N'amaaso go gatemeza ki?
13N'okukyusa omwoyo gwo okulwana ne Katonda, N'oleka ebigambo ebiri bwe bityo okuva mu kamwa ko.
14Omuntu kye kiki abeere omulongoofu? N'oyo azaalibwa omukazi abeere omutuukirivu?
15Laba, teyeesiga batukuvu be; Weewaawo, eggulu si ddongoofu mu maaso ge.
16Omugwagwa era omuvundu si ye asinga nnyo obutaba mulongoofu, Omuntu anywa obutali butuukirivu ng'amazzi!
17Naakwolesa, mpulira; N'ekyo kye ndabye kye nnaabuulira:
18(Ab'amagezi kye baabuuliranga Okuva ku bajjajjaabwe, ne batakikweka;
19Abaaweebwa ensi bokka, So tewali munnaggwanga eyayita mu bo:)
20Omubi aba lubuto lwa buyinike ennaku ze zonna, Gwe muwendo gw'emyaka egyamuterekerwa omujoozi.
21Eddoboozi ery'entiisa liba mu matu ge; Bw'aba ng'alabye omukisa omunyazi alimugwako:
22Takkiriza ng'alidda okuva mu kizikiza, Era ekitala kimulindirira:
23Atambuliratambulira ekyokulya ng'ayogera nti Kiri ludda wa? Amanyi ng'olunaku olw'ekizikiza lweteeseteese, luli ku mukono gwe.
24Okweraliikirira n'obubalagaze bimutiisa; Bimuwangula nga kabaka eyeeteeseteese okulwana:
25Kubanga agolodde omukono gwe eri Katonda, N'agirira Omuyinza w'ebintu byonna eby'ekyejo;
26Amufubutukirako ng'akakanyazizza ensingo ye, N'amakundi amanene ag'oku ngabo ze:
27Kubanga abisse ku maaso ge obugevvu bwe, Era aleese ebifi by'amasavu ku mbiriizi ze;
28Era yabeeranga mu bibuga eby'amatongo, Mu nnyumba omutali muntu, Ezaali zaagala okufuuka ebifunvu.
29Taagaggawalenga so n'ebintu bye tebiibenga bya lubeerera, So n'ebibala byabwe tebiikutamenga okutuuka ku ttaka.
30Taavenga mu kizikiza; Omuliro gunaakazanga amatabi ge, Era anaavangawo olw'omukka ogw'omu kamwa ke.
31Aleme okwesiga ebitaliimu nga yeerimbalimba: Kubanga ebitaliimu bye binaabanga empeera ye.
32Eneekomekkerezebwanga ebiro bye nga tebinnatuukirira, N'ettabi lye teriggumizenga.
33Anaakunkumulanga ezabbibu ze ezitannaba kwengera ng'omuzabbibu, Era anaasinsimulanga ekimuli kye ng'omuzeyituuni.
34Kubanga ekibiina ky'abatatya Katonda kinaabanga kigumba, Era omuliro gunaayokyanga eweema ezinaalwangamu enguzi.
35Baba mbuto za bubi, ne bazaala obutali butuukirivu, N'olubuto lwabwe luteekateeka bukuusa.