Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Omuntu azaalibwa omukazi wa nnakku si nnyigi, era ajjude obuyinike.
2Amulisa ng'ekimuli n'atemebwa: Era adduka ng'ekisiikirize so tabeerera.
3Naawe omuzibulira amaaso go afaanana bw'atyo, N'ondeeta mu musango nze naawe?
4Ani ayinza okuggya ekintu ekirongoofu mu kitali korongoofu? tewali n'omu.
5Kubanga ennaku ze zaateesebwa, omuwendo gw'emyezi gye guli naawe, Era wamuteekerawo ensalo ze z'atayinza kusukkako;
6Muggyeeko amaaso go awummule, Okutuusa lw'alimala olunaku lwe ng'akolera empeera.
7Kubanga waliwo essuubi ery'omuti bwe gutemebwa nga guliroka nate, Era ng'ettabi lyagwo etto teririfa.
8Ekikolo kyagwo newakubadde nga kikaddiwa mu ttaka, N'ekikonge kyagwo ne kifiira mu nsi;
9Naye olw'akaloosa k'amazzi gulimulisa, Ne gusuula amatabi ng'ekisimbe.
10Naye omuntu afa era ayongobera: Weewaawo, omuntu ata omukka, kale ali ludda wa?
11Ng'amazzi bwe gaggweerera mu nnyanja, N'omugga nga bwe guggwaawo ne gukalira;
12Bw'atyo n'omuntu agalamira n'atayimuka: Okutuusa eggulu lwe litalibaawo nate, tebalizuukuka, So tebalizuukuzibwa mu tulo twabwe.
13Singa onkwese mu magombe, Singa onkisa kyama okutuusa obusungu bwo lwe buliyita, Singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n'onjijukira!
14Omuntu bw'afa aliba mulamu nate? Nandirindiridde ne mmala ennaku zonna ez'olutabaalo lwange, Okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze.
15Wandimpise, nange nandikuyitabye: Wandibadde n'okwegomba eri omulimu gw'emikono gyo.
16Naye kaakano obala ebigere byange: Tolabirira kwonoona kwange?
17Okusobya kwange kuteekeddwako akabonero mu nsawo, Era osibira ddala obutali butuukirivu bwange.
18Era mazima olusozi olugwa luggwaawo, N'olwazi luggibwawo mu kifo kyalwo;
19Amazzi gasiriiza amayinja; Okwaajaala kwago kufumbiikiriza enfuufu ey'oku nsi: Era ozikiriza essuubi ery'omuntu.
20Ennaku zonna ng'omuwangula, n'ayitawo; Owaanyisa amaaso ge n'omusindika.
21Batabani be batuuka mu kitiibwa, ye nga takimanyi; Bakkakkanyizibwa, naye ye nga tategeera bwe bali.
22Naye omubiri gwe oguli ku ye gulumwa, N'emmeeme ye eri munda ye enakuwala.