Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna, Okutu kwange kwabiwulira ne kubitegeera.
2Bye mumanyi era nange mbimanyi: Mmwe temunsinga.
3Mazima naayogera n'Omuyinza w'ebintu byonna, Era njagala okuteesa ne Katonda.
4Naye mmwe mugunja eby'obulimba, Mmwenna muli basawo abataliiko kye bagasa.
5Singa musirikidde ddala! Lwe mwandibadde n'amagezi.
6Muwulire nno ensonga yange, Mutege okutu eri okuwoza kw'emimwa gyange.
7Munawolereza Katonda nga mwogera ebitali bya songa, Era nga muleeta eby’obulimba?
8Munaamutya kitiibwa? Munaayomberera Katonda?
9Kirungi ye okubakebera? Oba ng'omuntu bw'alimba munne munaamulimba ye?
10Talirema kubanenya, Bwe munaatya ekitiibwa mu kyama.
11Obukulu bwe obusinga tebulibatiisa N'entiisa ye teribagwako?
12Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu, Enkomera zammwe nkomera za ttaka.
13Musirike mundeke njogere, Ebinaayagala okujja binjijire.
14Kiki ekinaaba kintwaza omubiri gwange mu mannyo gange, Ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange?
15Newakubadde ng'anzita era naye naamulindiriranga: Era naye naakakasanga amakubo gange mu maaso ge.
16Era ekyo kye kinaabanga obulokozi bwange; Kubanga omusajja atatya Katonda taatuukenga mu maaso ge.
17Muwulire nnyo ebigambo byange, N'ebyo bye njatula bibe mu matu gammwe.
18Laba nno, ndiraanyizza ensonga yange; Mmanyi nga ndi mutuukirivu.
19Ani anaawakana nange? Kubanga kaakano naasirika ne nta omukka.
20Kyokka tonkola bigambo bibiri, Kale ne sseekweka amaaso go:
21Nziyaako omukono gwo gumbeere wala; So n'entiisa yo ereme okunkanga.
22Kale koowoola ggwe nange naayitaba; Oba leka njogere naawe onziremu.
23Obutali butuukirivu bwange n'ebibi byange byenkana wa obungi? Ntegeeza okusobya kwange n'okwonoona kwange.
24Okisiza ki amaaso go, N'ompita omulabe wo?
25Onoococca essubi eritwalibwa empewo? Era onooyigganya ebisasiro ebikaze?
26Kubanga ompandiikira ebigambo eby'ekkabyo, Era onsisa obutali butuukirivu obw'omu buto bwange:
27N'ebigere byange obisiba mu nvuba, era olamba amakubo gange gonna; Okoloboza olukoloboze okwetooloola ebigere byange:
28Newakubadde nga nfaanana ekintu ekivundu ekiggwaawo, Ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje.