Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2Mazima ddala mmwe muli bantu bennyini, Era amagezi galifiira wamu nammwe.
3Naye nange nnina okutegeera so si mmwe mwekka; Mmwe temunsinga: Weewaawo, ani atamanyi ebiri ng'ebyo?
4Ninga omuntu asekererwa eri munne, Omusajja eyakaabira Katonda n'amuddamu: Omusajja ow'ensonga era eyatuukirira asekererwa.
5Mu kulowooza kw'oyo eyessa mulimu okunyooma akabi; Kweteekeddeteekedde abo abaseerera n'ekigere kyabwe.
6Eweema ez'abanyazi ziraba omukisa, N'abo abanyiiza Katonda baba mirembe; Katonda aleeta ebintu bingi mu mukono gwabwe.
7Naye nno buuza ensolo, zinaakuyigiriza; N'ennyonyi ez'omu bbanga, zinaakubuulira:
8Oba yogera n'ettaka, linaakuyigiriza; N'ebyennyanja ebiri mu nnyanja binaakunnyonnyola.
9Ani atamanyi mu ebyo byonna, Ng'omukono gwa Mukama gwe guleese ebyo?
10Obulamu bwa buli kintu ekiramu buli mu mukono gw'oyo, N'omukka gw'abantu bonna.
11Okutu tekukema bigambo, Era ng'amatama bwe galega ku mmere yaago?
12Amagezi gaba n'abasajja abakadde, N'okutegeera kuba mu kuwangaala ennaku nnyingi.
13Eri ye eriyo amagezi n'amaanyi; yalina okuteesa ebigambo n'okutegeera.
14Laba, amenya so tekiyinzika kuzimbibwa nate; Aggalira omuntu so tewayinza kubaawo kuggulawo.
15Laba, aziyiza amazzi ne gakala; Nate agasindika ne gavuunika ensi.
16Eri ye eriyo amaanyi n'okukolera ddala; Alimbibwa n'alimba babe.
17Atwala abateesa b'ebigambo nga banyagiddwa, N'abalamuzi abafuula abasirusiru.
18Asumulula olujegere lwa bakabaka, Era asiba ekiwato kyabwe n'olukoba.
19Atwala bakabona nga banyagiddwa, Era amegga ab'amaanyi.
20Abeesigwa amalawo okwogera kwabwe, N'abakadde abaggyako okutegeera kwabwe.
21Afuka okunyoomebwa ku balangira, Era asumulula olukoba olw'ab'amaanyi.
22Ayolesa eby'obuziba ng'abiggya mu kizikiza, Era ayerula ekisiikirize eky'okufa.
23Ayaza amawanga, era agazikiriza: Abunya amawanga mu nsi, era agakomyawo.
24Abakulu b'abantu ab'omu nsi abaggyako omwoyo, Era abawabiza mu ddungu awatali kkubo.
25Bawammantira mu kizikiza awatali musana, Era abatagassa ng'omutamiivu.