Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'ayogera nti
2Olufulube lw'ebigambo terugwana kuluddamu? N'omuntu omwogeziyogezi agwana okumuwa obutuukirivu?
3Okwenyumiriza kwo kwandisirisizza abantu? Era bw'oduula, tewaabeewo anaakukwasa ensonyi?
4Kubanga oyogera nti Okuyigiriza kwange kulongoofu, Nange ndi mulungi mu maaso go.
5Naye Katonda singa ayogedde, N'ayasamya emimwa gye eri ggwe:
6Era singa akwolesezza ebyama eby'amagezi, Nga ga ngeri nnyingi mu kukola okw'amaanyi! Kale tegeera Katonda ng'akutaatira so si ng'obutali butuukirivu bwo bwe bwasaanira.
7Oyinza okulaba Katonda olw'okunoonya? Oyinza okulaba Omuyinza w'ebintu byonna n'omumalayo?
8Kyenkana eggulu obugulumivu; oyinza kukola ki? Kisinga amagombe okugenda wansi; oyinza kumanya ki?
9Ekigero kyakwo kisinga ensi obuwanvu, Era kisinga ennyanja obugazi:
10Bw'anaayitamu n'asiba abantu, N'abayita okujja okusalirwa omusango, kale ani ayinza okumuziyiza?
11Kubanga amanyi abantu abataliiko kye bagasa: Era alaba n'obutali butuukirivu newakubadde nga tabulowooza.
12Naye omuntu ataliiko ky'agasa talina kutegeera, Weewaawo, abantu bazaalibwa ng'omwana w'entulege.
13Bw'onooteekateekanga obulungi omutima gwo, N'ogololanga emikono gyo eri ye;
14Obujeemu oba nga buli mu mukono gwo, buteekenga wala, So n'obutali butuukirivu bulemenga okubeera mu weema zo;
15Kale toolemenga kuyimusa maaso go awatali bbala; Weewaawo, onootereeranga so tootyenga:
16Kubanga oneerabiranga ennaku ze walaba; Onoozijjukiranga ng’amazzi agayiseewo:
17N'obulamu bwo bunaatangalanga okusinga ettuntu; Newakubadde nga waliwo ekizikiza, bunaabanga ng’obw'enkya.
18Naawe onoobanga mirembe, kubanga essuubi weeriri; Weewaawo, onoomagamaganga n'owummula mirembe.
19Era onoogalamiranga so tewaabenga anaakutiisanga; Weewaawo, bangi abanaakwegayiriranga.
20Naye amaaso g'ababi ganaggwangawo, N’obuddukiro bunaababulanga, N'essuubi lyabwe linaabanga kuta mukka.