Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Emmeeme yange enyiye obulamu bwange; Naafukumula okwemulugunya kwange; Naayogeza kkabyo lya mmeeme Yange.
2Naagamba Katonda nti Tonsalira musango okunsinga; Ntegeeza kyova owakana nange.
3Okiyita kirungi ggwe okujooga, Okunyooma omulimu gw'engalo zo, N'oyakira okuteesa kw'ababi?
4Olina amaaso ag'omubiri, Oba ggwe olaba ng'abantu bwe balaba?
5Ennaku zo ziriŋŋanga ennaku ez'abantu, Oba emyaka gyo ng'ennaku ez'abantu,
6N'okubuuza n'obuuza obutali butuukirivu bwange, N'onoonya okwonoona kwange,
7Newakubadde ng'omanyi nga ssiri mubi; So tewali ayinza okuwonya mu mukono gwo?
8Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola Wamu eruuyi n'eruuyi; naye onzikiriza.
9Nkwegayiridde, jjukira nga wammumba ng'ettaka; Era olinziza nate mu nfuufu?
10Tonzituludde ng'amata, N'onkwasa ng'amata amakalu?
11Wannyambaza eddiba n'omubiri, Era wangatta wamu n'amagumba n'ebinywa.
12Wampa obulamu n'okuganja, N'okujja kwo gye ndi kwe kwakuuma omwoyo gwange.
13Era naye wakisa ebyo mu mutima gwo; Mmanyi ng'ekyo kiri naawe:
14Bwe nnyonoona, kale oneetegereza, So tolinziyako butali butuukirivu bwange.
15Bwe mba omubi, nga zinsanze; Era bwe mba omutuukirivu, era naye siriyimusa mutwe gwange; Nga nswazibwa nnyo Era nga ntunuulira ennaku ze ndaba.
16Era omutwe gwange bwe gwegulumiza, onjigganya ng'empologoma: Era nate weeraga ow'ekitalo gye ndi.
17Okomyawo buggya abajulirwa bo eri nze, N'onnyongerako okunyiiga kwo; Ebikyukakyuka n'obulwa biri nange.
18Kale kiki ekyakunziyisa mu lubuto? Nanditadde omukka, so tewandibaddewo liiso eryandindabye:
19Nandibadde ng'atabangawo; Nandisituliddwa okuva mu lubuto okuntwala mu ntaana.
20Ennaku zange si ntono? Kale lekera awo, Ondeke nsanyusibweko katono,
21Nga sinnagenda eyo gye ssiivenga kukomawo, Ye nsi ey'ekizikiza n'ey'ekisiikirize eky'okufa;
22Ensi ey'ekizikiza ekikutte, ng'ekizikiza kyennyini bwe kiri; Ensi ey'ekisiikirize eky'okufa awatali kuteekateeka, Era omusana gwayo guliŋŋanga ekizikiza.