Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
35 verses
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2Mazima mmanyi nga bwe kiri bwe kityo: Naye omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda?
3Bw'aba nga ayagadde okuwakana naye Tayinza kumuddamu kigambo na kimu mu lukumi.
4Omutima gwe gwa magezi, era amaanyi ge mangi:. Ani eyali yeekakanyazizza eri ye n'alaba omukisa?
5Ajjulula ensozi ne zitamanya, Bw'azivuunisa obusungu bwe.
6Anyeenya ensi okuva mu kifo kyayo, Empagi zaayo ne zikankana.
7Alagira enjuba n'etevaayo; Era ateekako akabonero ku mmunyeenye.
8Abamba eggulu yekka, Era alinnyirira amayengo ag'ennyanja.
9Akola Nabaliyo, Entungalugoye, ne Kakaaga, N'ebisenge eby'obukiika obwa ddyo.
10Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Weewaawo, eby'ekitalo ebitabalika.
11Laba, ampitako, ne ssimulaba: Era yeeyongerayo mu maaso, naye ne ssimutegeera.
12Laba, akwata omuyiggo, ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamugamba nti Okola ki?
13Katonda taggyengawo busungu bwe; Ababeezi ba Lakabu bakutama wansi we.
14Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Ne nneerobaza ebigambo byange mpakane naye?
15Gwe sandizeemu newakubadde nga ndi mutuukirivu; Nandyegayidde omulabe wange.
16Singa nkoowodde naye ng'ajitabye; Era naye sandikkirizza ng'awulidde eddoboozi lyange.
17Kubanga ammenya ne kibuyaga, Era ayongera ebiwundu byange okunnanga obwereere.
18Taŋŋanyenga kussa mukka, Naye anjijuza obubalagaze.
19Bwe twogera ku maanyi ag'omuyinza, laba, nga waali! Bwe twogera ku kusala omusango, ani ananteekerawo ekiseera?
20Newakubadde nga ndi mutuukirivu, akamwa kange nze ke kanansalira omusango okunsinga: Newakubadde nga natuukirira, kanantegeeza okuba omukyamu.
21Nze ndi muntu eyatuukirira; seerowooza nzekka; Nnyooma obulamu bwange.
22Bwonna bwe bumu; kyenva njogera nti Azikiriza oyo eyatuukirira n'omubi.
23Ekibonyoobonyo bwe kitta amangu ago, Alikudaalira okusalirwa omusango okw'abataliiko kabi.
24Ensi eweereddwayo mu mukono gw'omubi : Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si ye, kale ye ani?
25Ennaku zange nno ziwulukuka mangu okusinga omubaka: Zidduka, teziriiko bulungi bwe ziraba.
26Ziyise ng'amaato agatambula embiro Ng'empungu ekka ku muyiggo.
27Bwe njogera nti Nneerabira okwemulugunya kwange, Naasanyusa amaaso gange aganakuwadde ne ŋŋumya omwoyo:
28Awo nga ntidde obuyinike bwange bwonna, Mmanyi nga tolimpita ataliiko musango.
29Omusango gulinsinga; Kale kiki ekinteganyisa obwereere?
30Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira, Engalo zange newakubadde nga nzitukuza ntya;
31Era naye olinsuula mu lusalosalo, N'engoye zange nze zirintamwa.
32Kubanga ye si muntu nga nze bwe ndi, nze okumuddamu, Ffe okulabagana okuwoza omusango.
33Tewali mulamuzi ali wakati waffe, Eyandiyinzizza okuteeka omukono gwe ku ffe fembi.
34Anziyeeko omuggo gwe, So entiisa ye ereme okunkanga:
35Kale bwe nnandyogedde ne simutya: Kubanga si bwe ntyo bwe ndi nze nzekka.