Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2Olituusa wa okwogera ebyo? Era ebigambo eby'omu kamwa ko birituusa wa okuba ng'empewo ey'amaanyi?
3Katonda anyoola omusango? Oba Omuyinza w'ebintu byonna anyoola ensonga?
4Abaana bo oba nga baamwanoona, Ye n'abagabula mu mukono gw'okusobya kwabwe:
5Bw'onokkiriza okunoonyeza ddala Katonda, Ne weegayirira Omuyinza w'ebintu byonna;
6Singa obadde mulongoofu era wa mazima; Teyandiremye nno okukuzuukukira, N'awa omukisa ekifo omubeera obutuukirivu bwo.
7Okusooka kwo newakubadde nga kwali kutono, Naye enkomerero yo ey'oluvannyuma yandyeyongedde nnyo.
8Kubanga buuza ab'emirembe egyasooka, nkwegayiridde, Okenneenye ebyo bajjajjaabwe bye baanoonyeza ddala:
9(Kubanga tuli ba jjo, so tetuliiko kye tumanyi, Kubanga ennaku zaffe ze tumala ku nsi kisiikirize:)
10Bo tebalikuyigiriza ne bakubuulira, Ne boogera ebigambo ebiva mu mutima gwabwe?
11Ekitoogo kiyinza okukula awatali bitosi? Olulago luyinza okumera awatali mazzi?
12Nga lukyali lubisi nga terunnatemebwa, Luwotoka okusooka omuddo omulala gwonna.
13Bwe gatyo bwe gabeera amakubo ga bonna abeerabira Katonda; N'essuubi ly'oyo atatya Katonda binaabulanga:
14Obwesige bwe bunaakutukanga, N'ekyo kye yeesiga ngoye za nnabbubi.
15Aneesigamanga ku nnyumba ye, naye teeyimirirenga: Anaaginywererangako, naye teegumenga.
16Ayerera mu maaso g'enjuba, N'amalagala ge galanda okubuna olusuku lwe.
17Emmizi gye gikwata ku kifunvu, Alaba ekifo eky'amayinja.
18Bw'anaazikirizibwanga okuva mu kifo kye, Awo kinaamwegaananga nga kyogera nti Sikulabangako.
19Laba, eryo lye ssanyu ery'ekkubo lye, N'abalala baliroka okuva mu ttaka.
20Laba, Katonda taasuulenga muntu eyatuukirira. So taawanirirenga abo abakola obubi.
21Bw'alimala alijjuza akamwa ko enseko, N’emimwa gyo okwogerera waggulu.
22Abakukyawa balyambala ensonyi; N’eweema ey’ababi teribaawo nate.