Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Abantu tebalina lutalo ku nsi? N'ennaku zaabwe tezifaanana nnaku z'oyo akolera empeera?
2Ng'omuddu ayaayaanira ennyo ekisiikirize, Era ng'oyo akolera empeera bw'asuubira empeera ye:
3Bwe ntyo nange bwe mmazibwa emyezi egitaliiko kye gigasa, N'ebiseera eby'ekiro ebinkooya byanteekerwawo.
4Bwe ngalamira ne njogera nti Naayimuka ddi? naye ekiro kirwawo; Era nsula nneekubiira okukeesa obudde.
5Omubiri gwange gwambadde envunyu n'amafunfugu; Eddiba lyange liziba ne litulika nate.
6Ennaku zange ziwulukuka mangu okusinga obutanta bw'omulusi w'engoye, Era ziggwaawo awatali ssuubi.
7Woowe, jjukira ng'obulamu bwange mpewo: Amaaso gange tegakyalaba nate birungi.
8Eriiso ly'oyo andaba terikyandaba nate: Amaaso go galiba ku nze, naye nga siriiwo.
9Ekire nga bwe kiggwaawo ne kibula, Bw'atyo n'oyo akka mu magombe taalinnyenga kuvaayo.
10Taddenga nate mu nnyumba ye, So n'ekifo kye tekiimumanyenga nate.
11Kyennaava nnema okuziyiza akamwa kange; Naayogeza obubalagaze bw'omwoyo gwange; Neemulugunyisa obuyinike bw'emmeeme yange.
12Nze nnyanja, oba lukwata, N'okussaako n'onzisaako abankuuma?
13Bwe njogera nti Ekitanda kyange kinansanyusa, Ekiriri kyange kinaawummuza okwemulugunya kwange;
14Kale n'olyoka ontiisa n'ebirooto, N'onkanga n'okwolesebwa:
15Emmeeme yange n'okweroboza ne yeeroboza okutugibwa, N'okufa okusinga amagumba gange gano.
16Ntamiddwa obulamu bwange; saagala kuba mulamu ennaku zonna: Ndeka; kubanga ennaku zange teziriimu.
17Omuntu kye kiki, ggwe okumukuza, Era ggwe okumussaako omwoyo gwo.
18N'okumujjira buli nkya, N'okumukema buli kaseera?
19Olituusa wa obutanziyangako maaso, N'obutandekanga okumala okumira amalusu gange?
20Oba nga nnyonoonye, nkukola ki ggwe, ggwe alabirira abantu? Kiki ekyakunteesaawo okuba sabbaawa gy'oli, N'okuzitowa ne nneezitoowerera nze nzekka?
21Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano naagalamira mu nfuufu; Naawe olinnoonyeza ddala, naye nze nga siriiwo.