Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
30 verses
1Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2Singa okweraliikirira kwange kupimiddwa, N'ennaku zange singa ziteekeddwa mu minzaani wamu!
3Kubanga kaakano zandisinze obuzito omusenyu ogw'ennyanja: Ebigambo byange kye bivudde bibeera eby'okwanguyiriza.
4Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna buli munda yange, N'obusagwa bwabwo omwoyo gwange gubunywa: Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange.
5Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo? Oba ente eŋooŋa awali emmere yaayo?
6Ekitaliimu nsa kiriika awatali munnyo? Oba olububi lw'eggi luliko bwe luwooma?
7Emmeeme yange egaana okubikomako; Biriŋŋanga ebyokulya eby'omuzizo gye ndi.
8Singa nnyinza okuweebwa kye nsaba; Katonda singa ampadde kye nneegomba !
9Katonda singa asiimye okumbetenta; Singa ayanjuluzza engalo ze n'ammalawo!
10Kale bwe nnandibadde n'okusanyusibwa nga mmaze Weewaawo, nandijaguzizza olw'okulumwa awatali kusaasirwa: Kubanga sigaananga bigambo bya Mutukuvu.
11Amaanyi gange kye ki, nnindirire? N'enkomerero yange kye ki, ngumiikirize?
12Amaanyi gange maanyi ga mayinja? Oba omubiri gwange gwa kikomo?
13Si kubanga sirina kinnyamba mu nze? N'okukola okw'amaanyi kugobeddwa ddala gye ndi?
14Ayagala okuzirika agwana mukwano gwe okumukola eby'ekisa; Era n'oyo aleka okutya Omuyinza w'ebintu byonna.
15Baganda bange balimbyerimbye ng'akagga, Ng'olusalosalo lw'obugga oluggwaawo:
16Obuddugala olw'amazzi agakutte, Era omuzira mwe gwekweka:
17Buli lwe bubuguma, ne bubula: Ebbugumu bwe libaawo, bumalibwawo okuva mu kifo kyabwo.
18Essafaali ezitambula ku mabbali gaabwo ne zikyama; Bambuka mu ddungu ne bazikirira.
19Essafaali z'e Tema zaatunula, Ebibiina eby'e Seeba byabulindirira.
20Baakwatibwa ensonyi kubanga baasuubira; Bajja eyo ne baswazibwa.
21Kubanga kaakano temuliiko kye muli; Mulaba ekitiisa ne mutya.
22Nali mbagambye nti Mpa? Oba nti Muweeyo ku bintu byammwe ekirabo ku lwange?
23Oba nti Mumponye mu mukono gw'omulabe? Oba nti Munnunule mu mukono gw'abajoozi?
24Munjigirize nange naasirika: Era muntegeeze bwe kiri kye nnasobya.
25Ebigambo eby'obugolokofu nga bya maanyi! Naye okuwakana kwammwe kunenya ki?
26Mulowooza okunenya ebigambo? Kubanga okwogera kw'oyo atalina ssuubi biriŋŋanga empewo.
27Weewaawo, mwandikubidde obululu atalina kitaawe, Ne mukwano gwammwe mwandimuviisizzaamu amagoba.
28Kale nno mukkirize okuntunuulira; Kubanga mazima sijja kulimba mu maaso gammwe.
29Muddeeyo, mbeegayiridde, waleme okubaawo ebitali bya nsonga; Weewaawo, muddeeyo nate, ensonga yange nnungi.
30Ku lulimi lwange kuliko ebitali bya nsonga? Amatama gange tegayinza kwawula bigambo ebireeta akabi?