Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.
2Muwulire kino, mmwe abakadde, era mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi. Kino kyali kibaddewo mu biro byammwe oba mu biro bya bajjajjammwe?
3Mukibuulire abaana bammwe, n'abaana bammwe babuulire abaana baabwe, n'abaana baabwe ab'emirembe emirala.
4Ebyo akawuka bye kafissizzaawo enzige ebiridde; n'ebyo enzige bye yafissizzawo kalusejjera kabiridde; n'ebyo kalusejjera bye kafissizzaawo akaacaaka kabiridde.
5Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mukaabe amaziga; muwowoggane, mmwe mwenna abanywa omwenge, olw'omwenge omuwoomerevu; kubanga gumaliddwawo okuva ku kamwa kammwe.
6Kubanga eggwanga litabadde ensi yange, ery'amaanyi eritabalika: amannyo ge mannyo ga mpologoma, era alina amasongezo ag'empologoma enkulu.
7Azisizza omuzabbibu gwange, era asasambudde omutiini gwange: agusasambulidde ddala, era agusudde wala; amatabi gaagwo gafuuse meeru.
8Kungubaga ng'omuwala ey'esibye ebibukutu bw'akungubagira bba ow'omu buwala bwe.
9Ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bimaliddiwawo okuva mu nnyumba ya Mukama; bakabona, abaweereza ba Mukama, bawuubaala.
10Ennimiro ezise, ensi ewuubaala; kubanga eŋŋaano ezise, omwenge omusu gukaze, amafuta gaggweerera.
11Mukwatibwe ensonyi, mmwe abalimi, muwowoggane, mmwe abawawaagula emizabbibu, olw'eŋŋaano ne sayiri; kubanga ebikungulwa eby'omu nnimiro bifudde.
12Omuzabbibu guwotose, n'omutiini guyongobera; omukomamawanga n'olukindu n'omucungwa, emiti gyonna egy'omu nnimiro, giwotose: kubanga essanyu liwotose okuva ku baana b'abantu.
13Mwesibe ebibukutu mukungubage, mmwe bakabona; muwowoggane, mmwe abaweereza ab'ekyoto; mujje mugalamire nga mwambadde ebibukutu mukeese obudde, mmwe abaweereza ba Katonda wange: kubanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa baguguba nabyo eri ennyumba ya Katonda wammwe.
14Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mukuŋŋaanyize abakadde ne bonna abali mu nsi eri ennyumba ya Mukama Katonda wammwe, mumukaabire Mukama.
15Zitusanze olw'olunaku kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng'okuzikiriza okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.
16Emmere temaliddwawo ffe nga tulaba, weewaawo, essanyu n'okujaguza okuva mu nnyumba ya Katonda waffe?
17Ensigo zivunda wansi w'amafunfugu gaazo; amawanika galekeddwawo, amaterekero gasuuliddwa; kubanga eŋŋaano ewotose.
18Ensolo nga zisinda! amagana g'ente gabuliddwa amagezi, kubanga tezirina muddo; weewaawo, ebisibo by'endiga birekeddwawo.
19Ai Mukama, ggwe nkaabira: kubanga omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu, n'ennimi zaagwo zookezza emiti gyonna egy'omu nnimiro.
20Weewaawo, ensolo ez'omu nsiko zikuwankirawankira: kubanga emigga egy'amazzi gikalidde, n'omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu.