Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
32 verses
1Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, era mulayize ku lusozi lwange olutukuvu; bonna abali mu nsi bakankane: kubanga olunaku lwa Mukama lujja, kubanga luli kumpi;
2olunaku olw'ekizikiza n'ekikome, olunaku olw'ebire n'ekizikiza ekikutte, ng'emmambya bw'esalira ku nsozi; eggwanga eddene era ery'amaanyi, tewabangawo eribenkana, so tewalibaawo nate oluvannyuma lwabwe, okutuusa ku myaka egy'emirembe emingi.
3Omuliro gwokya mu maaso gaabwe; era ennyuma waabwe ennimi z'omuliro zaaka: ensi eri ng'olusuku lwa Adeni mu mberi yaabwe, n'e nnyuma yaabwe ddungu eryazika so naye tewali eyali abawonye.
4Enfaanana yaabwe eri ng'enfaanana y'embalaasi; era ng'abeebagadde embalaasi bwe baddukana bwe batyo embiro:
5Babuuka nga bawuuma ng'amagaali bwe gawuumira ku ntikko z'ensozi, ng'omuliro bwe guwuuma ogwokya ensambu ng'eggwanga ery'amaanyi erisimbye ennyiriri olw'olutalo.
6Olw'okujja kwabwe abantu babalagalwa amaaso gonna gafuuse ebbala.
7Badduka mbiro ng'abasajja ab'amaanyi; balinnya bbugwe ng'abasajja abalwanyi; era basimba buli muntu mu kkubo lye, so tebasobya nnyiriri.
8So tewali eyeesiga munne; basimba buli muntu mu mpitiro ye: era bawagulira awali ebyokulwanyisa, so tebakoma mu lugendo lwabwe.
9Babuuka bagwa ku kibuga; bafubutukira ku bbugwe; bawalampa ne batuuka mu nnyumba; bayingirira mu madirisa ng'omubbi.
10Ettaka likankana mu maaso gaabwe; eggulu lijugumira, enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza n'emmunyeeye zirekayo okwaka kwazo:
11era Mukama aleeta eddoboozi lye mu maaso g'eggye lye kubanga olusiisira lwe lunene nnyo kubanga oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi: kubanga olunaku lwa Mukama lukulu, lwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulusobola?
12Era naye ne kaakano munkyukire n'omutima gwammwe gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala:
13era muyuze omutima gwammwe so si byambalo byammwe, mukyukire Mukama Katonda wammwe: kubanga wa kisa, era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa nnyo ekisa, era yejjusa obutaleeta bubi.
14Ani amanyi oba nga taakyuke ne yejjusa n'aleka omukisa ennyuma we, kye kiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa eri Mukama Katonda wammwe?
15Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu:
16mukuŋŋaanye abantu, mutukuze ekibiina, mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato n'abo abayonka amabeere: awasa omugole ave mu kisenge kye, n'omugole mu nju ye.
17Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era boogere nti Saasira abantu bo, ai Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, amawanga okubafuga: kiki ekinaaba kiboogezza mu mawanga nti Katonda waabwe ali ludda wa?
18Awo Mukama n'akwatirwa obuggya ensi ye, n'asaasira abantu be.
19Awo Mukama n'addamu n’agamba abantu be nti Laba, ndibaweereza eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, era biribakkusa:
20so siribafuula nate ekivume mu mawanga: naye ndibaggyako eggye ery'obukiika bwa kkono ne nditwala wala, ne mbagobera mu nsi enkalu eyalekebwawo, abakulembeze be mu nnyaja ey'ebuvanjuba, n'abasembi be mu nnyanja ey'ebugwanjuba; n'ekivundu kye kiririnnya, n'okuwunya kwe kulirinnya, kubanga akoze ebikulu.
21Totya, ggwe ensi, sanyuka ojaguze; kubanga Mukama akoze ebikulu.
22Temutya, mmwe ensolo ez'omu nsiko; kubanga amalundiro ag'omu ddungu galoka, kubanga omuti gubala ebibala byagwo, omutiini n'omuzeyituuni gireeta amaanyi gaagyo.
23Kale musanyuke, mmwe abaana ba Sayuuni, era mujagulize Mukana Katonda wammwe: kubanga abawa enkuba eya ttoggo mu kigera kyayo ekisaana, era abatonnyeseza enkuba, enkuba eya ttoggo n'enkuba eya ddumbi, mu mwezi ogw'olubeeberye.
24N'amawuuliro galijjula eŋŋaano, n'amasogolero galiyiika omwenge n'amafuta.
25Era ndibaddiza emyaka enzige gye yalya, kalusejjera n'akaacaaka n'akawuka, eggye lyange eringi lye nnagaba okubatabaala.
26Kale munaalyanga bingi nnyo, ne mukkuta, ne mutendereza erinnya lya Mukama Katonda wammwe eyabakola eby'ekitalo: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi ennaku zonna.
27Era mulimanya nga ndi wakati mu Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda wammwe, so tewali mulala: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi.
28Awo olulituuka oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa:
29era ne ku baddu ne ku bazaana mu nnaku ezo kwe ndifuka omwoyo gwange.
30Era ndyolesa eby'ekitalo mu ggulu ne mu nsi, omusaayi n'omuliro n'empagi ez'omukka.
31Enjuba erifuuka kizikiza, n'omwezi okuba omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnaba kujja.
32Awo olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka: kubanga ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abo abaliwona, nga Mukama bwe yayogera, ne mu kitundu ekirifikkawo mulibaamu abo Mukama b'aliyita.