Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Kubanga, laba, mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bwe ndikomyawo obusibe bwa Yuda ne Yerusaalemi,
2ndikuŋŋaanya amawanga gonna ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yekosaffaati; kale ndiyima eyo ne mpolereza abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaanyirizza mu mawanga ne bagabana ensi yange.
3Era bakubidde abantu bange obululu: era bawaddeyo omulenzi olw'omukazi omwenzi, ne batunda omuwala olw'omwenge, balyoke banywe.
4Weewaawo, nammwe nfaayo ki eri mmwe, mmwe Ttuulo ne Sidoni n'enjuyi zonna ez'Obufirisuuti? Mulinsasula? n'okusasula bwe muliba nga munsasudde, ndyanguya mangu ndisambyako okuzza okusasula kwammwe ku mutwe gwammwe mmwe.
5Kubanga mututte effeeza yange ne zaabu yange, ne mutwala mu biggwa byammwe ebintu byange ebirungi ebisanyusa;
6era abaana ba Yuda n'abaana ba Yerusaalemi mwabaguza abaana b'Abayonaani, mubajjulule okubatwala ewala n'ensalo yaabwe:
7laba, ndibagolokosa mu kifo gye mwabatunda, era ndizza okusasula kwammwe ku mutwe gwammwe mmwe:
8era nditunda batabani bammwe ne bawala bammwe mu mukono gw'abaana ba Yuda, n'abo balibaguza abasajja ab’e Seba, eggwanga eriri ewala: kubanga Mukama ye akyogedde.
9Mulangirire kino mu mawanga; mutegeke obulwa: mugolokose abasajja ab'amaanyi: abasajja bonna abalwanyi basembere, bambuke.
10Muweese enkumbi zammwe okuba ebitala, n'ebiwabyo byammwe okuba amafumu: omunafu ayogere nti Ndi wa maanyi.
11Mwanguwe mujje, mmwe mwenna amawanga ageetoolodde mukuŋŋaane: serengesa eyo ababo ab'amaanyi, ai Mukama:
12Amawanga gayimuke gambuke mu kiwonvu kya Yekosaffaati: kubanga eyo gye ndituula okusala omusango gw'amawanga gonna ageetoolodde.
13Muteekeewo ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengedde: mujje musambe; kubanga essogolero lijjudde, amabanvu gayiika; kubanga obubi bwabwe bungi.
14Oluggube, oluggube, oluggube lw'abantu bali mu kiwonvu eky'okumaliririramu! kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu eky'okumaliririramu.
15Enjuba n'omwezi biriko ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka kwazo.
16Awo Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; n'eggulu n'ensi birikankana: naye Mukama aliba buddukiro eri abantu be era ekigo eri abaana ba Isiraeri.
17Bwe mutyo mulimanya nga nze ndi Mukama Katonda wammwe, abeera ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu: kale Yerusaalemi kiriba kitukuvu so tewaliba bannaggwanga abalikiyitamu nate.
18Awo olulituuka ku lunaku luli ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu n'obusozi bulikulukuta amata, n'obugga bwonna obwa Yuda bulikulukuta amazzi; era oluzzi luliva mu nnyumba ya Mukama, lulifukirira ekiwonvu Sittimu.
19Misiri eriba matongo, ne Edomu eriba ddungu eryalekebwawo, olw'ekyejo ekyagirirwa abaana ba Yuda, kubanga bayiye omusaayi ogutaliiko musango mu nsi yaabwe.
20Naye Yuda alibeerera ennaku zonna, ne Yerusaalemi okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna.
21Era ndirongoosa omusaayi gwabwe gwe ssaalongoosa: kubanga Mukama abeera ku Sayuuni.