Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
51 verses
1Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda.
2Oyo yaliwo ku lubereberye awali Katonda.
3Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa.
4Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu.
5Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera.
6Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana.
7Oyo yajja olw'okutegeeza ategeeze eby'omusana, bonna bakkirize ku bubwe.
8Oyo si ye musana, wabula okutegeeza eby'omusana.
9Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi.
10Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera.
11Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza.
12Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye:
13abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda.
14Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'eky'oyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima.
15Yokaana n'amutegeeza n'ayogerera waggulu ng'ayogera nti Oyo gwe nnagamba nti Ajja ennyuma wange ansinga nze: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.
16Kubanga ku kujjula kwe ffe fenna kwe twaweebwa, n'ekisa mu kifo ky'ekisa.
17Kubanga amateeka gaaweebwa ku bwa Musa; ekisa n'amazima byabaawo ku bwa Yesu Kristo.
18Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, aba mu kifuba kya Kitaffe, oyo yamutegeeza.
19Kuno kwe kutegeeza kwa Yokaana, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti Ggwe ani?
20N'ayatula, n'ateegaana; n'ayatula nti Si nze Kristo.
21Ne bamubuuza nti Kale lw'oli ani? oli Eriya? N'agamba nti Si nze ye. Ggwe nnabbi oli? N'addamu nti Nedda.
22Awo ne bamugamba nti Lw'oli ani? tubaddemu abatutumye. Weeyita ani?
23N'agamba nti Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.
24Abaatumibwa baali ba mu Bafalisaayo.
25Ne bamubuuza, ne bamugamba nti Oba ggwe toli Kristo, oba Eriya, oba nnabbi oli, kale kiki ekikubatizisa?
26Yokaana n'abaddamu, ng'agamba nti Nze mbatiza n'amazzi: wakati mu mmwe ayimiridde omuntu gwe mutamanyi,
27ajja ennyuma wange, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ye.
28Ebyo byakolerwa Bessaniya, emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yabatirizanga.
29Olunaku olw'okubiri n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi!
30oyo gwe nnagamba nti Ennyuma wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.
31Nange saamumanya: naye ayolesebwe Isiraeri, kyennava njija nga mbatiza n'amazzi.
32Yokaana n'ategeeza ng'agamba nti Nnalaba Omwoyo ng'ava mu ggulu ng'ejjiba; n'abeera ku ye.
33Nange saamumanya: naye eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaŋŋamba nti Ggwe oliraba Omwoyo ng'akka ng'abeera ku ye, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu.
34Nange ne ndaba, ne ntegeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda.
35Olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n'ab'oku bayigirizwa be babiri;
36n'atunuulira Yesu ng'atambula, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda!
37Abayigirizwa abo ababiri ne bawulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu.
38Yesu n'akyuka n'abalaba nga bamugoberera, n'abagamba nti Munoonya ki? Ne bamugamba nti Labbi (amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Omuyigiriza), osula wa?
39N'abagamba nti Mujje, munaalabawo. Ne bajja ne balaba w'asula; ne basula ewuwe olunaku olwo: obudde bwali nga ssaawa ya kkumi.
40Andereya, muganda wa Simooni Peetero, ye omu ku bali ababiri abaawulira Yokaana ng'ayogera, ne bamugoberera.
41Ye n'asooka okulaba muganda we ye Simooni, n'amugamba nti Tulabye Kristo, amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Eyafukibwako amafuta.
42N'amuleeta eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa, (amakulu gaalyo bwe litegeezebwa nti Peetero).
43Olunaku olwaddako yayagala okuvaayo okugenda e Ggaliraaya, n'alaba Firipo: Yesu n'amugamba nti Ngoberera.
44Naye Firipo yali w'e Besusayida, mu kibuga kya Andereya ne Peetero.
45Firipo n'alaba Nassanayiri n'amugamba nti Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi.
46Nassanayiri n'amugamba nti Mu Nazaaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi? Firipo n'amugamba nti Jjangu olabe.
47Yesu n'alaba Nassanayiri ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa!
48Nassanayiri n'amugamba nti Wantegeerera wa? Yesu n'addamu n'amugamba nti Firipo bw'abadde tannakuyita, bw'obadde mu mutiini, ne nkulaba.
49Nassanayiri n'amuddamu nti Labbi, ggwe Mwana wa Katonda: ggwe Kabaka wa Isiraeri.
50Yesu n'addamu n'amugamba nti Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? oliraba ebikulu okukira ebyo.
51N'amugamba nti Ddala ddala mbagamba nti Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w'omuntu.