Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
53 verses
1Awo ku lunaku olw'olubereberye ku nnaku omusanvu, mu matulutulu enkya, ne bajja ku ntaana ne baleeta eby'akaloosa bye baategeka.
2Ne balaba ejjinja nga liyiringisibbwa okuva ku ntaana.
3Ne bayingiramu, ne batasanga mulambo gwa Mukama waffe Yesu.
4Awo olwatuuka bwe baali basamaaliridde olw'ekyo, laba, abantu babiri ne bayimirira we baali, nga bambadde engoye ezimasamasa;
5awo bwe baali batidde, nga bakutamye amaaso gaabwe, ne babagamba nti Kiki ekibanoonyesa omulamu mu bafu?
6Taliiwo wano, naye azuukidde: mujjukire bwe yayogera nammwe ng'akyali mu Ggaliraaya,
7ng'agamba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okuweebwayo mu mikono gy'abantu abalina ebibi, n'okukomererwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukira.
8Awo ne bajjukira ebigambo bye,
9ne bava ku ntaana ne baddayo, ebyo byonna ne babibuulira bali ekkumi n’omu, n'abalala bonna.
10Baali Malyamu Magudaleene, ne Yowaana, ne Malyamu nnyina Yakobo: n'abakazi abalala wamu nabo ne babuulira abatume ebigambo ebyo.
11Ebigambo ebyo ne bifaanana mu maaso gaabwe nga bya busirusiru; ne batakkiriza.
12Naye Peetero n'agolokoka n'addukana ku ntaana; n'akutama n'alingiza n'alabamu ebiwero ebya bafuta, nga biri byokka; n'akomawo ewuwe, nga yeewuunya ebibaddewo.
13Awo laba, ku lunaku olwo, babiri ku bo baali nga bagenda mu mbuga erinnya lyayo Emawo, eyali ewalako ne Yerusaalemi, sutaddyo nkaaga.
14Ne banyumya bokka na bokka ebyo byonna ebibaddewo.
15Awo olwatuuka baali nga banyumya nga beebuuzaganya, Yesu yennyini n'abasemberera, n'agenda wamu nabo.
16Naye amaaso gaabwe ne gazibwa baleme okumutegeera.
17N'abagamba nti Bigambo ki bye mubuuzaganya nga mutambula? Ne bayimirira nga bawootedde.
18Omu ku bo erinnya lye Kulyoppa n'addamu n'amugamba nti Ggwe osula wekka mu Yerusaalemi atamanyi ebyabaamu mu nnaku zino?
19N'abagamba nti Bigambo ki? Ne bamugamba nti Ebya Yesu Omunazaaleesi, eyali nnabbi ow'amaanyi mu bye yakoleranga ne bye yayogereranga mu maaso ga Katonda ne mu g'abantu bonna:
20ne bakabona abakulu n'abakungu baffe bwe baamuwaayo okumusalira omusango ogw'okumutta, ne bamukomerera.
21Naye ffe twali tusuubira nti ye alinunula Isiraeri. Ate ne ku bino byonna, leero zino ennaku ssatu ebigambo bino kasookedde bibaawo.
22Era n'abakazi abamu ab'ewaffe batuwuniikirizza, abaakedde okugenda ku ntaana;
23bwe bataasanze mulambo gwe, ne bajja ne bagamba nti balabye okwolesebwa kwa bamalayika abagambye nti mulamu.
24N'abamu ku abo abaabadde naffe bagenze ku ntaana, ne basanga bwe batyo ng'abakazi bwe bagambye, naye ne batamulaba.
25Kale ye n'abagamba nti Mmwe abasirusiru, abagayaavu mu mutima okukkiriza byonna bannabbi bye baayogeranga;
26tekyagwanira Kristo okubonyaabonyezebwa ebyo, alyoke ayingire mu kitiibwa kye?
27N'asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikirwa ye.
28Ne basembera kumpi n'embuga gye baali bagenda: ye n'aba ng'abayisa okugenda mu maaso.
29Ne bamuwaliriza nga bagamba nti Tuula naffe: kubanga obudde bugenda kuwungeera, n'enjuba egoloobye kaakano. N'ayingira okutuula nabo.
30Awo olwatuuka yali atudde nabo ku mmere, n'atoola omugaati n'agwebaza, n'agumenyamu n'abawa.
31Amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera; n'abulirawo bo obutamulaba.
32Ne beebuuzaganya nti Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo, ng'atubikkulira ebyawandiikibwa?
33Ne bayimuka mu kiseera ekyo ne bakomawo e Yerusaalemi, ne basanga bali ekkumi n'omu, n'abo be baali nabo, nga bakuŋŋaanye
34nga bagamba nti Mazima Mukama waffe azuukidde era alabikidde Simooni.
35Nabo ne babannyonnyola biri eby'omu kkubo, ne bwe yategeerekese gye bali olw'okumenyamu omugaati.
36Awo baali nga bakyayogera ebyo, ye yennyini n'ayimirira wakati waabwe, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe.
37Naye ne beekanga ne batya, ne balowooza nti balaba muzimu.
38N'abagamba nti Ekibeeraliikiriza kiki? N'okubuusabuusa kujjira ki mu mitima gyammwe?
39Mulabe engalo zange n'ebigere byange, nga nze nzuuno mwene: munkwateko mulabe; kubanga omuzimu tegulina nnyama na magumba, nga bwe mulaba nze bwe ndi nabyo.
40Bwe yamala okwogera ekyo, n'abalaga engalo ze n'ebigere.
41Awo bwe baali tebannaba kukkiriza olw'essanyu, nga beewuunya, n'abagamba nti Mulina ekiriibwa wano?
42Ne bamuwa ekitundu eky'ekyennyanja ekyokye.
43N'akitoola n'akiriira mu maaso gaabwe.
44N'abagamba nti Bino bye bigambo byange bye nnababuulira, nga nkyali nammwe, bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyawandiikirwa nze mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu zabbuli.
45N'alyoka abikkula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikibwa;
46n'abagamba nti Bwe kityo bwe kyawandiikibwa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olw'okusatu;
47era amawanga gonna okubuulirwanga okwenenya n'okuggibwako ebibi mu linnya lye, okusookeza ku Yerusaalemi.
48Mmwe bajulirwa b'ebyo.
49Era laba, mbaweereza mmwe okusuubiza kwa Kitange: naye mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava waggulu.
50N'abatwala ebweru n'abatuusa e Bessaniya: n'ayimusa emikono gye n'abawa omukisa.
51Awo olwatuuka ng'akyabawa omukisa, n'abaawukanako, n'atwalibwa mu ggulu.
52Nabo ne bamusinza, ne bakomawo e Yerusaalemi n'essanyu lingi:
53ne babeeranga mu yeekaalu bulijjo, nga beebaza Katonda.