Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
42 verses
1Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi.
2Naye ayita mu mulyango, ye musumba w'endiga.
3Oyo omuggazi amuggulirawo; n'endiga zimuwulira eddoboozi: aziyita endiga ze amannya; azifulumya ebweru.
4Bw'amala okufulumya ezize zonna, azikulembera, n'endiga zimugoberera: kubanga zimumanyi eddoboozi.
5Omulala tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi lya balala.
6Yesu n'abagerera olugero luno, naye bo tebaategeera bigambo bwe biri bye yabagamba.
7Awo Yesu n'abagamba nate nti Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw'endiga.
8Bonna abansooka baali babbi era abanyazi: naye endiga tezaabawulira.
9Nze mulyango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro.
10Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi.
11Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga.
12Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya.
13Adduka kubanga wa mpeera, so endiga tazissaako mwoyo.
14Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera
15nga Kitange bw'antegeera, nange mpaayo obulamu bwange olw'endiga.
16Era nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu.
17Kitange kyava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate.
18Tewali abunziyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nakiweebwa Kitange.
19Ne wabaawo nate okwawukana mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo.
20Abamu ku bo bangi ne bagamba nti Aliko dayimooni era alaluse; mumuwulirira ki?
21Abalala ne bagamba nti Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni ayinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?
22Yali mbaga ey'okutukuza mu Yerusaalemi; byali biro bya mpewo;
23Yesu n'atambulira mu yeekaalu mu kisasi kya Sulemaani.
24Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti Olituusa wa okutubuusisabuusisa? Oba nga ggwe Kristo, tubuulirire ddala.
25Yesu n'abaddamu nti Nnabagamba, naye temukkiriza: emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange, gye gintegeeza nze.
26Naye mmwe temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange.
27Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera;
28nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange.
29Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange.
30Nze ne Kitange tuli omu.
31Abayudaaya ne baddira nate amayinja okumukuba.
32Yesu n'abaddamu nti Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja?
33Abayudaaya ne bamuddamu nti Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.
34Yesu n'abaddamu nti Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Nze nnagamba nti Muli bakatonda?
35Oba nga yabayita abo bakatonda, abajjirwa ekigambo kya Katonda, (so n'ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba),
36mwe mumugambira ki ye, Kitaawe gwe yatukuza, n'amutuma mu nsi, nti Ovvodde; kubanga ŋŋambye nti Ndi Mwana wa Katonda?
37Bwe sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza.
38Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange.
39Ne basala amagezi nate okumukwata: n'ava mu mikono gyabwe.
40N'agenda nate emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yali olubereberye ng'abatiza; n'abeera eyo.
41Abantu bangi ne bajja gy'ali; ne bagamba nti Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bye yayogera ku ono byali bya mazima.
42Ne bamukkiririza eyo bangi.