Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
57 verses
1Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow'e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali;
2Malyamu oyo eyasiiga Mukama waffe amafuta n'amuttaanya ebigere n'enviiri ze ye yalina mwannyina Lazaalo eyali alwadde.
3Awo bannyina abo ne bamutumira, nga bagamba nti Mukama waffe, laba, gw'oyagala alwadde.
4Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw'ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n'ekitiibwa olw'obwo.
5Naye Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo.
6Awo bwe yawulira ng'alwadde, n'ayosaawo ate ennaku bbiri mu kifo kye yalimu.
7Ate n'alyoka agamba abayigirizwa nti Tuddeyo e Buyudaaya.
8Abayigirizwa ne bamugamba ati Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda?
9Yesu n'addamu nti Essaawa ez'emisana si kkumi na bbiri? Omuntu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba omusana ogw'ensi eno.
10Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.
11Yayogera bw'ati, n'alyoka abagamba ati Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa.
12Awo abayigirizwa ne bamugamba nti Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka.
13Naye Yesu yayogera ku kufa kwe: naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka kwa tulo.
14Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti Lazaalo afudde.
15Nange nneesiimye ku lwammwe kubanga saaliyo, mulyoke mukkirize; naye tugende gy'ali.
16Awo Tomasi ayitibwa Didumo n'agamba bayigirizwa banne nti Naffe tugende tufiire wamu naye.
17Awo Yesu bwe yatuuka, n'asanga nga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.
18Naye Bessaniya yali kumpi ne Yerusaalemi nga sutadyo kkumi na ttaano;
19Abayudaaya bangi baali bazze eri Maliza ne Malyamu okubakubagiza olwa mwannyinaabwe.
20Awo Maliza bwe yawulira nga Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana: naye Malyamu n'asigala mu nju.
21Awo Maliza n'agamba Yesu nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.
22Era kaakano mmanyi nga byonna by'onoosaba Katonda, Katonda anaabikuwa.
23Yesu n'amugamba nti Mwannyoko ajja kuzuukira.
24Maliza n'amugamba nti Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw'olunaku olw'enkomerero.
25Yesu n'amugamba nti, “Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu:
26na buli muntu mulamu akkiriza nze talifa emirembe n'emirembe. Okkiriza ekyo?”
27N'amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange: nze nzikiriza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”.
28Bwe yamala okwogera bw'ati, n'agenda, n'ayita muganda we Malyamu kyama, ng'agamba nti Omuyigiriza azze, akuyita.
29Naye bwe yawulira, n'agolokoka mangu, n'ajja gy'ali.
30Yesu yali tannatuuka mu mbuga, naye ng'akyali mu kifo Maliza kye yamusangamu.
31Awo Abayudaaya abaali naye mu nnyumba, nga bamukubagiza, bwe baalaba Malyamu ng'ayimiridde mangu okufuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti agenda ku ntaana okukaabira eyo.
32Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy'ali n'amulaba, n'agwa ku bigere bye, n'amugamba nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.
33Awo Yesu bwe yamulaba ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nga bakaaba, n'asinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira,
34n'agamba nti Mwamuteeka wa? Ne bamugamba nti Mukama waffe, jjangu olabe.
35Yesu n'akaaba amaziga.
36Awo Abayudaaya ne boogera nti Laba bw'abadde amwagala.
37Naye abamu ku bo ne boogera nti Omuntu ono, eyazibula amaaso ga muzibe w'amaaso teyayinza kulobera ono okufa?
38Awo Yesu bwe yasinda ate mu nda ye, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eteekeddwako ejjinja kungulu.
39Yesu n'agamba nti Muggyeewo ejjinja. Maliza, mwannyina w'oli eyafa, n'amugamba nti Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya.
40Yesu n'amugamba nti Sikugambye nti Bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?
41Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'ayogera nti Kitange, nkwebaza kubanga wampulira.
42Nange nnamanya ng'ompulira bulijjo: naye njogedde ku lw'ekibiina ekinneetoolodde, bakkirize nga ggwe wantuma.
43Bwe yamala okwogera bw'ati, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene nti Lazaalo, fuluma ojje.
44Eyali afudde n'afuluma, ng'azingiddwa mu mabugo amagulu n'emikono; n'ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. Yesu n'abagamba nti Mumusumulule, mumuleke agende.
45Awo bangi ab'omu Bayudaaya, abajja ewa Malyamu, bwe baalaba ky'akoze, ne bamukkiriza.
46Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafalisaayo, ne bababuulira Yesu by'akoze.
47Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋanya olukiiko, ne bagamba nti Tukole tutya? kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi.
48Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n'Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n'eggwanga lyaffe.
49Naye omu ku bo, Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, n'abagamba nti Mmwe temuliiko kye mumanyi,
50so temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n'eggwanga lyonna lireme okubula.
51Ekyo teyakyogera mu magezi ge yekka; naye kubanga yali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, yalagula nti Yesu agenda okufiirira eggwanga eryo;
52so si lwa ggwanga eryo lyokka, naye akuŋŋaanyize wamu abaana ba Katonda abaasaasaana.
53Awo okuva ku lunaku olwo ne bateesa okumutta.
54Awo Yesu n'atatambula nate mu Buyudaaya mu lwatu, naye n'avaayo n'agenda mu kifo ekiri okumpi n'eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu; n'abeera eyo n'abayigirizwa.
55Naye Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka: bangi abaava mu byalo ne balinnya e Yerusaalemi Okuyitako nga kukyali, beerongoose.
56Awo Yesu ne bamunoonya, ne boogera bokka na bokka, nga bayimiridde mu yeekaalu, nti Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga?
57Naye bakabona abakulu n'Abafalisaayo baali balagidde nti Omuntu bw'ategeera w'ali, ababuulire balyoke bamukwate.