Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
66 verses
1Nze ndi muntu oyo eyalaba ennaku olw'omuggo ogw'obusungu bwe.
2Yantwala n'antambuliza mu kizikiza so si mu musana.
3Mazima tata kundeetako mukono gwe okuzibya obudde.
4Omubiri gwange n'eddiba lyange abikadiyizza; amenye amagumba gange.
5Anzimbiddeko n'anneetoolooza omususa n'okulumwa.
6Antuuzizza mu bifo eby'ekizikiza ng'abo abaafa edda.
7Ankomedde n'okuyinza ne siyinza kufuluma; azitoyezza olujegere lwange.
8Weewaawo, bwe nkaaba ne nkuba enduulu okubeerwa, aggalira okusaba kwange.
9Akomedde amakubo gange n'amayinja amateme, akyamizza empitiro zange.
10Ali gye ndi ng'eddubu eteega, ng'empologoma eri mu bifo eby'ekyama.
11Akyamizza olugendo lwange, n'antaagulataagula; ansamaalirizza.
12Anaanudde omutego gwe, n'anteekawo okuba sabbaawa w'akasaale.
13Ayingizizza mu mmeeme yange ebiri mu mufuko gwe.
14Nfuuse eky'okusekererwa eri abantu bange bonna; n'oluyimba lwabwe okuzibya obudde.
15Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza abusinso,
16Era amenye amannyo gange n'oluyinjayinja, ambisseeko evvu.
17Era wayawula emmeeme yange okuba ewala n'emirembe; nneerabira omukisa bwe gufaanana.
18Ne njogera nti Amaanyi gabuze, n'okusuubira kwange okuva eri Mukama.
19Jjukira ennaku zange n'obuyinike bwange, abusinso n'omususa.
20Emmeeme yange ekyabijjukira, era ekutamye mu nda yange.
21Nkijjukira ekyo, kyenvudde mbeera n'okusuubira.
22Kwe kusaasira kwa Mukama ffe obutamalwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
23Kiba kiggya buli nkya; obwesigwa bwo bungi.
24Mukama gwe mugabo gwange, emmeeme yange bw'eyogera; kyennaava mmusuubira.
25Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya.
26Kirungi omuntu okusuubiranga n'okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng'ateredde.
27Kirungi omuntu okusitula ekikoligo mu buto bwe.
28Atuule yekka asirike, kubanga akimutaddeko.
29Ateeke akamwa ke mu nfuufu oba nga mpozzi wanaabaawo okusuubira.
30Awe ettama lye eri oyo amukuba; akkute okuvumibwa.
31Kubanga Mukama talisuula ennaku zonna.
32Kuba newakubadde ng'aleeta obuyinike, naye alikwatibwa ekisa ng'olufulube lw'okusaasira kwe bwe luli.
33Kubanga tagenderera kubonyaabonya newakubadde okuluma abaana b'abantu.
34Okulinnyirira n'ekigere abasibe bonna ab'omu nsi,
35Okukyamya ensonga y'omuntu mu maaso g'oyo ali waggulu ennyo,
36N'okulya ensonga, ebyo Mukama tabisiima.
37Ani oyo ayogera ne kituukirira, Mukama nga takiragidde?
38Mu kamwa k'oyo ali waggulu ennyo temuvaamu ebibi n'ebirungi?
39Omuntu omulamu yeemulugunyiza ki, omuntu olw'okubonerezebwa olw'ebibi bye?
40Tukebere tukeme emitima gyaffe, tukyukire nate eri Mukama.
41Tuyimuse emitima gyaffe wamu n'engalo zaffe eri Katonda mu gulu.
42Tusobezza era tujeemye; tosonyiye.
43Otubisseeko obusungu, n'otuyigganya; osse so tosaasidde.
44Weebisseeko ekire, okusaba kwafe kuleme okugguka okutuukayo.
45Otufudde ng'empitambi n'ebisasiro wakati mu mawanga.
46Abalabe baffe bonna batwasamidde nnyo akamwa kaabwe.
47Entiisa n'obunnya bitutuuseeko, okunyagibwa n'okuzikirira.
48Eriiso lyange likulukuta emigga egy'amazzi olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange.
49Eriiso lyange litonnya, terirekaayo, terita n'akatono,
50Okutuusa Mukama lw'anaatunula wansi n'alaba ng'ayima mu ggulu.
51Eriiso lyange linakuwaza emmeeme yange olw'abawala bonna ab'ekibuga kyange.
52Bancoccedde ddala nnyo ng'ennyonyi, ababa abalabe bange awatali nsonga.
53Bamazeewo obulamu bwange mu nju ey'obunnya, era bansuddeko ejjinja.
54Amazzi gaakulukuta ku mutwe gwange; ne njogera nti Mmaliddwawo.
55Nakaabira erinnya lyo, ai Mukama, nga nnyima mu nju ey'obunnya eya wansi ennyo.
56N'owulira eddoboozi lyange; tokisa kutu kwo kussa mukka kwange, okukaaba kwange.
57Wasembera ku lunaku kwe nnakukaabirira: n'oyogera nti Totya.
58Ai Mukama, wawoza ensonga ez'emmeeme yange; wanunula obulamu bwange.
59Ai Mukama, olabye okujoogebwa kwange; nsalira omusango.
60Olabye eggwanga lyonna lye bawalana, n'enkwe zonna ze bansalira.
61Owulidde okuvuma kwabwe, ai Mukama, n'enkwe zonna ze bansalira;
62Emimwa gy'abo abangolokokerako n'ebyo bye bandowoolezaako okuzibya obudde.
63Tunuulira okutuula kwabwe n'okuyimuka kwabwe; nze ndi luyimba lwabwe,
64Olibasasula empeera, ai Mukama, ng'omulimu bwe guli ogw'emikono gyabwe.
65Olibawa omutima ogukakanyadde, ekikolimo kyo eri bo.
66Olibayigganya n'obusungu, n'obazikiriza okuva wansi w'eggulu lya Mukama.