Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
30 verses
1Mukama n'agamba Musa nti
2Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu bigambo eby'okuteresa, oba mu by'okulamulagana, oba mu by'okunyaga, oba bw'abanga ajooze muliraanwa we;
3oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba; mu kigambo kyonna ku ebyo byonna omuntu ky'akola ng'ayonoona bw'atyo;
4kale olunaatuukanga bw'aba ng'ayonoonye era ng'aliko omusango, anazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyateresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula
5oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo eky'okutaano: nannyini kyo gw'alikiwa ku lunaku lw'alirabika ng'aliko omusango.
6Era anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, endiga ennume eteriiko bulema ey'omu kisibo, nga bw'onoosalanga okuba ekiweebwayo olw'omusaago, eri kabona:
7ne kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama, naye anaasonyiyibwanga; mu bigambo byonna bye yali akoze ebimuleetako omusango.
8Mukama n'agamba Musa nti
9Lagira Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nku zaakyo ku kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuliro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga.
10Era kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekya bafuta, ne seruwale ye eya bafuta anaagyambalanga ku mubiri gwe; kale anaasitulanga evvu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa omuliro kye gwokezza ku kyoto, era anaaliteekanga ku mabbali g'ekyoto.
11Awo anaayambulanga ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu.
12Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayokerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe.
13Omuliro gunaakumibwanga mu kyoto lutata; teguzikiranga.
14Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiwecrangayo mu maaso ga Mukama mu maaso g'ekyoto.
15Era anaakitoolangako olubatu lwe, ku butta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, ne ku mafuta gaakyo, n'omugavu gwonna oguli ku kiweebwayo eky'obutta, n'akyokera ku kyoto okuba evvumbe eddungi, okuba ekijjukizo kyakyo eri Mukama.
16N'ekyo ekinaafikkangawo Alooni n'abaana be banaakiryanga: kinaaliirwanga awatali kizimbulukusa mu kifo ekitukuvu; mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu mwe banaakiriiranga.
17Tekyokebwanga n'ekizimbulukusa. Nkibawadde okuba omugabo gwabwe ku byange ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango.
18Buli musajja ku baana ba Alooni banaakiryangako, okuba ebbanja ennaku zonna mu mirembe gyammwe gyonna, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu.
19Mukama n'agamba Musa nti
20Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta; ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekitundu kyabwo akawungeezi.
21Ku kikalango kwe bunaafumbirwanga n'amafuta; bwe bumalanga okunnyikira, n'olyoka obuyingiza: onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta mu bitole ebyokye okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
22Era kabona eyafukibwako amafuta anaabanga mu kifo kye ow'oku baana be ye anaakiwangayo: kinaayokebwanga kyonna eri Mukama olw'etteeka eritalijjulukuka ennaku zonna.
23Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna: tekiriibwanga.
24Mukama n'agamba Musa nti
25Gamba Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama: kye kitukuvu ennyo.
26Kabona akiwaayo olw'ekibi y'aaaakiryanga: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
27Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu: era bwe kunaamansirwanga ku musaayi gwakyo ku kyambalo kyonna, onooyolezanga ekyo ekimansiddwako mu kifo ekitukuvu.
28Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga: era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaasiimuulwanga era kinaayozebwanga n'amazzi.
29Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kye kitukuvu ennyo.
30So tewabanga kiweebwayo lwa kibi, kye batoolako ku musaayi gwakyo ne baguyingiza mu weema ey'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, kye balyako; kinaayokebwanga n'omuliro.