Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
38 verses
1Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'omusango: kye kitukuvu ennyo.
2Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mwe banattiranga ekiweebwayo olw'omusango: n'omusaayi gwakyo anaagumansiranga ku kyoto enjuyi zonna.
3Era anaawangayo ku kyo amasavu gaakyo gonna; omukira ogwa ssava, n'amasavu agali ku byenda
4n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana n'ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako:
5awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: kye kiweebwayo olw'omusango.
6Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu: kye kitukuvu ennyo.
7Ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kiti: etteeka lyabyo limu: kabona annakitangirizanga y'anaabanga nakyo.
8Era kabona awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'omuntu yenna, kabona oyo y'aneetwaliranga eddiba ery'ekiweebwayo ekyokebwa ky'awaddeyo.
9Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekyokerwa mu kabiga, ne byonna ebirongoosebwa mu kikalango, ne ku kikalango eky'omu kabiga, binaabanga bya kabona abiwaayo.
10Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekitabulwamu amafuta oba kikalu, abaana ba Alooni bonna banaabanga nakyo, buli muntu okwenkana ne munne.
11Era lino lye tteeka erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe omuntu by'anaawangayo eri Mukama
12Oba ng'agiwaayo olw'okwebaza, kale anaaweerangayo wamu ne ssaddaaka ey'okwebaza emigaati egitazimbulukuswa egitabuddwamu amafuta, n'egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigiddwako amafuta, n'emigaati egitabudwamu amafuta, egy'obutta obulungi obunnyikidde.
13Awamu n'emigaati egizimbulukuswa bw'anaawangayo ky'awaayo wamu ne ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe olw'okwebaza.
14Era ku yo anaawangayo gumu ku buli kitone okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gunaabanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe.
15Era ennyama eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw'agiweerako; tafissangako okutuusa enkya.
16Naye oba nga ssaddaaka gy'awaayo bweyamo, oba gy'awaayo ku bubwe, enerriibwanga ku lunaku lw'aweerako saddaaka ye: n'enkya ekinaafikkangako kinaaliibwanga;
17naye ekinaafikkanga ku nnyama eya ssaddaaka ku lunaku olw'okusatu kinaayokebwanga n'omuliro.
18Era oba ng'ennyama yonna eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eneeriibwanga ku lunaku olw'okusatu, tekkirizibwenga, so teemubalirwenga oyo agiwaayo: eneebanga ya muzizo, n'omwoyo ogunaagiryangako gunaabangako obubi bwe.
19Era ennyama ekoma ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teriibwanga; eneeyokebwanga n'omuliro. N'ennyama eyo, buli mulongoofu anaagiryangako:
20naye omwoyo ogunaalyanga ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, ng'aliko obutali bulongoofu bwe, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
21Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku kintu ekitali kirongoofu, obutali bulongoofu bw'omuntu, oba ensolo eteri nnongoofu, oba eky'omuzizo kyonna ekitali kirongoofu, n'alya ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
22Mukama n'agamba Musa nti
23Gamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku masavu, ag'ente, newakubadde ag'endiga, newakubadde ag'embuzi.
24N'amasavu g'eyo efa yokka n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo ganaabanga ga mirimu mirala gyonna: naye okulya temugalyangako n'akatono,
25Kubanga buli alya ku masavu g'ensolo, abantu gye bawaayo okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, omwoyo ogwo ogunaagalyangako gunaazikirizibwanga mu bantu be.
26So temulyanga ku musaayi ogw'engeri yonna, bwe guba ogw'ennyonyi newakubadde ogw'ensolo, mu nnyumba zammwe zonna.
27Buli muntu yenna anaalyanga ku musaayi gwonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
28Mukama n'agamba Musa nti
29Gamba abaana ba Isiraeri nti Awaayo ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eri Mukama anaaleetanga ekitone kye eri Mukama ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe:
30engalo ze yennyini zinaaleetanga ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; amasavu n'ekifuba anaabireetanga, ekifuba kiwuubibwewuubibwenga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
31Era kabona anaayokeranga amasavu ku kyoto: naye ekifuba kinaabanga kya Alooni n'abaana be.
32N'ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona okuba ekiweebwayo ekisitulibwa ku ssaddaaka z'ebyo bye muwaayo olw'emirembe.
33Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, n'amasavu, y'anaabanga n'ekisambi ekya ddyo okuba omugabo gwe.
34Kubanga ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye nziye ku baana ba Isiraeri ku ssaddaaka z'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, n'embiwa Alooni kabona n'abaana be, okuba ebbanja emirembe gyonna eri abaana ba Isiraeri.
35Ogwo gwe mugabo ogw'okufukibwako amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwako amafuta ogw'abaana be, oguggibwa ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, ku lunaku lwe yabaleeterako okuweereza Mukama mu bwakabona;
36Mukama gwe yalagira okubawanga abaana ba Isiraeri; ku lunaku lwe yabafukirako amafuta. Linaabanga bbanja ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.
37Eryo lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa, ery'ekiweebwayo eky'obutta, n'ery'ekiweebwayo eky'ekibi, n'ery'ekiweebwayo olw'omusango; n'ery'okwawula, n'erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe;
38Mukama lye yalagira Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku kwe yalagirira abaana ba Isiraeri okuwangayo ebitone byabwe eri Mukama mu ddungu lya Sinaayi.