Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
37 verses
1N'agamba abayigirizwa be nti Tekiyinzika ebisittaza obutajja; naye zimusanze oyo abireeta!
2Waakiri oyo okusibwa olubengo mu bulago bwe, okusuulibwa mu nnyanja, okusinga okusittaza omu ku abo abato.
3Mwekuumenga: muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga.
4Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi omusanvu n'akukyukira ng'agamba nti Nneenenyezza; omusonyiwanga.
5Abatume ne bagamba Mukama waffe nti Otwongereko okukkiriza.
6Mukama waffe n'agamba nti Singa mulina okukkiriza okutono ng'akaweke ka kaladaali, mwandigambye omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nnyanja; era gwandibawulidde.
7Naye ani ku mmwe, alina omuddu ng'alima oba ng'alunda endiga, bw'ayingira ng'ava mu lusuku, alimugamba nti Jjangu mangu ago otuule olye;
8naye atamugamba nti Jjula emmere ndye, weesibe, ompeereze, mmale okulya n'okunywa; naawe olyoke olye era onywe?
9Amwebaza omuddu oyo olw'okukola by'alagiddwa?
10Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.
11Awo olwatuuka bwe baali mu kkubo nga bagenda e Yerusaalemi yali ng'ayita wakati wa Samaliya ne Ggaliraaya.
12Awo bwe yayingira mu mbuga emu ne bamusisinkana abantu kkumi abagenge, abaayimirira ewala;
13ne boogerera waggulu ne bagamba nti Yesu, Mukama waffe, otusaasire.
14Bwe yabalaba n'abagamba nti Mugende mwerage eri bakabona. Awo olwatuuka bwe baali nga bagenda ne balongoosebwa.
15Awo omu ku bo, bwe yalaba ng'awonye, n'akomawo n'atendereza Katonda n'eddoboozi ddene;
16n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebaza: era oyo yali Musamaliya.
17Yesu n'addamu nagamba nti Ekkumi bonna tebalongoosebbwa? naye bali omwenda bali ludda wa?
18Tebalabise abakomawo okutendereza Katonda, wabula omugenyi ono?
19N'amugamba nti Yimuka, ogende: okukkiriza kwo kukuwonyezza.
20Bwe yabuuzibwa Abafalisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bujja ddi? n'abaddamu n'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda tebujja nga bweyolese:
21so tebaligamba nti Laba, buli wano! Oba nti Buli wali! Kubanga, laba, obwakabaka bwa Katonda buli munda yammwe!
22N'agamba abayigirizwa be nti Ennaku zigenda okujja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z'Omwana w'omuntu, so temulirulaba.
23Kale balibagamba nti Laba, wali! Laba, wano! temugendanga, so temugobereranga;
24kubanga okumyansa bwe kumyansiza ku luuyi olumu olw'eggulu, nga bwe kumasamasiza ne ku luuyi olulala olw'eggulu, bw'atyo Omwana w'omuntu bw'aliba ku lunaku lwe.
25Naye okusooka kimugwanira okubonyaabonyezebwa ebingi n'okugaanibwa ab'emirembe gino.
26Era nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa, bwe bityo bwe biriba ne mu nnaku z’Omwana, w'omuntu.
27Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna.
28Era nga bwe byali mu nnaku za Lutti; baali nga balya, nga banywa, nga bagula nga batunda, nga basiga, nga bazimba;
29naye ku lunaku luli Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n'ekibiriiti ne bitonnya okuva mu ggulu ne bibazikiriza bonna:
30bwe bityo bwe biriba ku lunaku Omwana w'omuntu lw'alibikkulibwa.
31Ku lunaku olwo, alibeera waggulu ku nnyumba, n'ebintu bye nga biri mu nnyumba, takkanga kubiggyamu; n'ali mu lusuku bw'atyo taddanga nnyuma.
32Mujjukire mukazi wa Lutti.
33Buli anoonya okulokola obulamu bwe alibubuza; naye buli abubuza alibuwonya.
34Mbagamba nti Mu kiro ekyo babiri baliba ku kitanda kimu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
35Abakazi babiri baliba nga baseera wamu; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
36Ababiri baliba mu lusuku; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
37Ne baddamu ne bamugamba nti Wa, Mukama waffe? N'abagamba nti Awaba omulambo eyo n'ensega we zirikuŋŋaanira.