Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
43 verses
1N'abagerera olugero bwe kibagwanira okusabanga bulijjo, obutakoowanga;
2n'agamba nti Waaliwo omulamuzi mu kibuga kimu, ataatya Katonda, era nga tassaamu muntu kitiibwa;
3era waaliwo nnamwandu mu kibuga ekyo; n'ajjanga w'ali ng'agamba nti Nnamula n'omulabe wange.
4N'atasooka kukkiriza; naye oluvannyuma n'ayogera munda mu ye nti Newakubadde nga sitya Katonda, era nga sissaamu muntu kitiibwa;
5naye olw'okunteganya nnamwandu ono kw'anteganya nnamulamula, aleme okuntengezza ng'ajja olutata.
6Mukama waffe n'agamba nti Muwulire omulamuzi oyo atali mutuukirivu ky'agamba.
7Kale ne Katonda taliramula balondebe abamukaabirira emisana n'ekiro, ng'akyagumiikiriza?
8Mbagamba nti Alibalamula mangu. Naye Omwana w'omuntu bw'alijja, aliraba okukkiriza ku nsi?
9N'abalala abaali beerowooza ku bwabwe okuba abatuukirivu nga banyooma abalala bonna, n'abagamba olugero luno, nti
10Abantu babiri baalinnya mu yeekaalu okusaba, omu Mufalisaayo, omulala muwooza.
11Omufalisaayo n'ayimirira n'asaba yekka ebigambo bino nti Ai Katonda, nkwebaza kubanga siri nga bantu balala bonna, abanyazi, abalyazaamaanyi, abenzi, newakubadde ng'ono omuwooza.
12Nsiiba emirundi ebiri mu ssabbiiti; mpaayo ekitundu eky'ekkumi ku byonna bye nfuna.
13Naye omuwooza n'ayimirira wala, n'atayagala na kuyimusa maaso ge mu ggulu, naye ne yeekuba mu kifuba ng'agamba nti Ai Katonda, onsaasire nze alina ebibi.
14Mbagamba nti Oyo yakka okuddayo mu nnyumba ye ng'aweereddwa obutuukirivu okusinga oli; kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.
15Awo ne baleeta n'abaana abato w'ali, okubakomako: naye abayigirizwa bwe baabalaba, ne bababoggolera.
16Naye Yesu n'abayita ng'agamba nti Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng'abo obwakabaka bwa Katonda bwe bwabwe.
17Mazima mbagamba nti Buli atakkirizenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omuto, talibuyingiramu n'akatono.
18N'omuntu omukulu omu n'amubuuza ng'agamba nti Omuyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?
19Yesu n'amugamba nti Ompitira ki omulungi? tewali mulungi wabula omu, ye Katonda.
20Amateeka ogamanyi nti Toyendanga, Tottanga, Tobbanga, Towaayirizanga, Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko.
21N'agamba nti Ebyo byonna nnabikwatanga okuva mu buto bwange.
22Yesu bwe yawulira n'amugamba nti Okyaweebuuseeko kimu; tunda by'oli nabyo byonna, obigabire abaavu, kale oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje ongoberere.
23Naye bwe yawulira ebyo n'anakuwala nnyo; kubanga yali mugagga nnyo.
24Awo Yesu bwe yamulaba n'agamba nti Nga kizibu abalina obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
25Kubanga kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
26Abaawulira ne bagamba nti Kale ani ayinza okulokoka?
27Naye n'agamba nti Ebitayinzika eri abantu biyinzika eri Katonda.
28Peetero n'agamba nti Laba, ffe twaleka ebyaffe ne tukugoberera.
29N'abagamba nti Mazima mbagamba nti Tewali muntu eyaleka ennyumba, oba mukazi, oba ba luganda, oba bazadde, oba baana, olw'obwakabaka bwa Katonda,
30ataweebwa nate emirundi mingi mu biro bino, ne mu biro ebigenda okujja obulamu obutaggwaawo.
31N'atwala abo ekkumi n'ababiri n'abagamba nti Laba, tulinnya e Yerusaalemi, n'ebyo byonna ebyawandiikibwa bannabbi birituukirira ku Mwana w'omuntu.
32Kubanga aliweebwayo mu b'amawanga, aliduulirwa, aligirirwa ekyejo, aliwandirwa amalusu:
33balimukuba enkoba, balimutta; era ku lunaku olw'okusatu alizuukira.
34Nabo ne batategeerawo ku ebyo n'ekimu; n'ekigambo ekyo kyali kibakwekeddwa, ne batategeera ebyayogerwa.
35Awo olwatuuka bwe yali ng'anaatera okutuuka e Yeriko, omuzibe w'amaaso yali ng'atudde ku kkubo ng'asabiriza;
36awo bwe yawulira ekibiina nga kiyita, n'abuuza nti kiki ekyo:
37Ne bamubuulira nti Yesu Omunazaaleesi ayita.
38N'ayogerera waggulu ng'agamba nti Yesu, omwana wa Dawudi, onsassire.
39N'abo abaali bakulembedde ne bamuboggolera okusirika; naye ye ne yeeyongera nnyo okwogerera waggulu nti Ggwe omwana wa Dawudi, onsaasire.
40Yesu n'ayimirira, n'alagira okumuleeta w'ali; awo bwe yasembera okumpi, n'amubuuza nti
41Oyagala nkukolere ki? N'agamba nti Mukama wange, njagala okuzibula.
42Yesu n'amugamba nti Zibula: okukkiriza kwo kukulokodde.
43Amangu ago n'azibula, n'amugoberera ng'agulumiza Katonda: n'abantu bonna bwe baalaba ne batendereza Katonda.