Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
33 verses
1Awo bwe baali banaatera okutuuka e Yerusaalemi nga batuuse e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri,
2n'abagamba nti Mugende mu mbuga ebali mu maaso: amangu ago bwe munaayingira omwo, munaalaba omwana gw'endogoyi ogusibiddwa, oguteebagalwangako muntu n'akatono; muguyimbule, muguleete.
3Omuntu bw'abagamba nti Mukola ki ekyo? mugamba nti Mukama waffe ye agwetaaga; amangu ago anaaguweereza eno.
4Ne bagenda, ne basanga omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa ku mulyango ebweru mu luguudo; ne baguyimbula.
5Abamu ku abo abaali bayimiridde awo ne babagamba nti Mukola ki okuyimbula omwana gw'endogoyi?
6Ne babagamba nga Yesu bwe yabagamba: ne babaleka.
7Ne baleeta omwana gw'endogoyi eri Yesu, ne bagusuulako engoye zaabwe; n'agwebagala.
8Bangi ne baaliira engoye zaabwe mu kkubo; abalala ne baaliira amalagala g'emiti, ge baatema mu nnimiro.
9Abaali bakulembedde n'abaali bava ennyuma ne boogerera waggulu nti Ozaana; Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama:
10Buweereddwa omukisa obwakabaka obujja, obwa jjajja ffe Dawudi: Ozaana waggulu ennyo.
11N'atuuka ku Yerusaalemi n'ayingira mu yeekaalu; bwe yamala okwetoolooza amaaso okulaba byonna, obudde bwali nga buwungeera, n'afuluma n'agenda e Bessaniya n'ekkumi n'ababiri.
12Awo bwe bwakya enkya, bwe baali bavudde mu Bessaniya n'alumwa enjala.
13Awo bwe yalengera omutiini oguliko amalagala n'agutuukako, era wozzi alabeko ekintu: awo bwe yagutuukako, n'atalabako kintu wabula amalagala kubanga si bye byali ebiro by'ettiini.
14N'addamu n'agugamba nti Okusooka leero okutuusa emirembe n'emirembe omuntu talyanga ku bibala byo. Abayigirizwa be ne bawulira.
15Awo ne batuuka e Yerusaalemi, n'ayingira mu yeekaalu n'asooka okugoba abaali batunda n'abagulira mu yeekaalu, n'avuunika emmeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'entebe z'abo abaali batunda amayiba;
16n'ataganya muntu okuyisa ekibya mu yeekaalu.
17N'ayigiriza, n'abagamba nti Tekyawandiikibwa nti Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu amawanga gonna? naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.
18Bakabona abakulu n'abawandiisi bwe baakiwulira, ne basala amagezi bwe banaamutta: kubanga baamutya, kubanga ebibiina byonna baawuniikirira olw'okuyigiriza kwe.
19Awo buli kawungeezi yafulumanga mu kibuga.
20Awo bwe bwakya enkya bwe baali nga bayita, ne balaba omutiini nga guvudde ku kikolo okukala.
21Peetero bwe yajjukira n'amugamba nti Labbi, laba, omutiini gwe wakolimira gukaze.
22Yesu n'addamu n'abagamba nti Mube n'okukkiriza mu Katonda.
23Mazima mbagamba nti Buli aligamba olusozi luno nti Sigulibwa; osuulibwe mu nnyanja; nga tabuusabuusa mu mutima gwe naye ng'akkiza nga kyayogera kikolebwa, alikiweebwa.
24Kyenva mbagamba nti Ebigambo byonna byonna bye musaba n'okwegayirira, mukkirize ga mubiweereddwa, era mulibifuna.
25Awo bwe munaayimiriranga nga musaba, musonyiwenga, bwe mubanga n'ekigambo ku muntu; ne Kitammwe ali mu ggulu abasonyiwe ebyonoono byammwe.
26Naye bwe mutasonyiwa, era ne Kitammwe ali mu ggulu talisonyiwa byonoono byammwe.
27Ate ne batuuka e Yerusaalemi; awo bwe yali ng'atambula mu yeekaalu, ne bajja w'ali bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde;
28ne bamugamba nti Buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza buno okukola bino?
29Awo Yesu n'abagamba nti nange kambabuuze mmwe ekigambo kimu, munziremu, nange nnaabuulira mmwe obuyinza bwe buli obunkoza bino.
30Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu, nantiki mu bantu? munziremu.
31Ne beebuuzaganya bokka na bokka nga bagamba nti Bwe tunaagamba nti Kwava mu ggulu; anaagamba nti Kale kiki ekyabalobera okumukkiriza?
32Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu - baatya abantu; kubanga bonna baalowooza mazima Yokaana okuba nnabbi.
33Ne baddamu Yesu, ne bamugamba nti Tetumanyi. Yesu n'abagamba nti Era nange siibabuulire obuyinza bwe buli obunkoza bino.