Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
44 verses
1N'atanula okwogerera nabo mu ngero. Omuntu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusibako olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu ekigo, n'alupangisaamu abalimi, n'atambula mu nsi endala.
2Awo omwaka bwe gwatuuka n'atuma omuddu eri abalimi, abalimi bamuwe ebibala by'emizabbibu gye.
3Ne bamukwata, ne bamukuba, n'addayo ngalo nsa.
4Ate n'abatumira omuddu omulala, oyo ne bamwasa olubale, ne bamuswaza.
5N'atuma omulala; oyo ne bamutta: n'abalala bangi; abamu nga babakuba, abalala nga babatta.
6Yali ng'alina omu, omwana omwagalwa: oluvannyuma n'amutuma gye baali, ng'agamba nti Banassaamu ekitiibwa omwana wange.
7Naye abalimi bali ne bagambagana bokka na bokka nti Ono ye musika, kale tumutte, n'obusika buliba bwaffe.
8Ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'olusuku lw'emizabbibu.
9Kale alibakola atya nannyini lusuku lw'emizabbibu? Alijja alizikiriza abalimi, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa balala.
10Temusomanga n'akatono ekyo ekyawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lyafuulibwa omutwe ogw'oku nsonda:
11Ekyo kyava eri Mukama, Era kya kitalo mu maaso gaffe?
12Ne basala amagezi okumukwata; ne batya ebibiina: kubanga baategeera ng'ageredde ku bo olugero olwo: ne bamuleka, ne bagenda.
13Ne batuma gy'ali ab'omu Bafalisaayo n'Abakerodiyaani okumutega mu bigambo.
14Awo bwe bajja, ne bamugamba nti Omuyigiriza, tumanyi ggwe ng'oli wa mazima, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu, naye oyigiriza ekkubo lya Katonda mu mazima: kale kirungi okuwanga Kayisaali omusolo, nantiki si weewaawo?
15Tuwengayo, oba tetuwangayo? Naye bwe yategeera bunnanfuusi bwabwe, n'abagamba nti Munkemera ki? Mundeetere eddinaali, ngirabe.
16Ne bagireeta. N'abagamba nti Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko buno by'ani? Ne bamugamba nti Bya Kayisaali.
17Yesu n'abagamba nti Ebya Kayisaali mumuwenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumuwenga Katonda. Ne bamwewuunya nnyo.
18Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja w'ali; ne bamubuuza ne bagamba nti
19Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga, n'aleka mukazi we, nga talese mwana, muganda we atwalanga mukazi we, n'assizaawo muganda we ezzadde.
20Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa omukazi, n'afa, n'atalekaawo zzadde;
21ow'okubiri n'amuwasa n'afa, era naye n'atalekaawo zzadde; n'ow'okusatu bw'atyo:
22bonna omusanvu ne batalekaawo zzadde. Oluvannyuma bonna nga baweddewo n'omukazi n'afa.
23Kale bwe balizuukira aliba muka ani ku bo? kubanga bonna omusanvu baamuwasa.
24Yesu n'abagamba nti Si kyemuva mukyama nga temumanyi ebyawandiikibwa newakubadde amaanyi ga Katonda?
25Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebaliwasa, so tebaliwayira; naye baliba nga bamalayika ab'omu ggulu.
26Naye eby'abafu okuzuukizibwa; temusomanga mu kitabo kya Musa ku Kisaka, Katonda bwe yamubuulira ng'agamba nti Nze ndi Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo?
27Si Katonda wa bafu, naye wa balamu: mukyama nnyo.
28Awo omu ku bawandiisi n'ajja n'awulira nga beebuuzaganya bokka na bokka, n'amanya ng'abazzeemu bulungi, n'amubuuza nti Tteeka ki ery'olubereberye ku gonna?
29Yesu n'addamu nti Ery'olubereberye lye lino nti Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu;
30era yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna.
31Ery'okubiri lye lino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka. Tewali tteeka ddala erisinga ago obukulu.
32Omuwandiisi n'amugamba nti Mazima, Omuyigiriza, oyogedde bulungi nga Katonda ali omu so tewali mulala wabula ye:
33n'okumwagala n'omutima gwonna, n'okutegeera kwonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kusinga nnyo ebiweebwayo byonna ebiramba ebyokebwa ne ssaddaaka.
34Awo Yesu bwe yalaba ng'amuzzeemu ng'omutegeevu, n'amugamba nti Toli wala obwakabaka bwa Katonda. Awo ne wataba muntu ayaŋŋanga okumubuuza nate.
35Yesu n'addamu n'agamba ng'ayigiriza mu yeekaalu nti Abawandiisi ekibagambya ki nti Kristo mwana wa Dawudi?
36Dawudi yennyini yagamba mu Mwoyo Omutukuvu nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.
37Dawudi yennyini amuyita Mukama we, abeera atya omwana we? Ab'omu kibiina ne bamuwulira n'essanyu.
38Awo mu kuyigiriza kwe n'abagamba nti Mwekuume abawandiisi abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu, n'okulamusibwa mu butale,
39n'entebe ez'oku mwanjo mu makuŋŋaaniro n'ebifo eby'ekitiibwa mu mbaga;
40abalya ennyumba za bannamwandu, era abasaba ennyo mu bunnanfuusi; abo balizza omusango ogusinga obunene.
41N'atuula okwolekera eggwanika, n'alaba ebibiina bwe bisuula effeeza mu ggwanika: bangi abaali abagagga abaasuulamu ebingi.
42Awo nnamwandu omu omwavu n'ajja, n'asuulamu ebitundu bibiri, ye kodulante.
43N'ayita abayigirizwa be, n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Nnamwandu ono omwavu asuddemu bingi okusinga bonna abasuula mu ggwanika:
44kubanga bonna basuddemu ku bibafikkiridde; naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo; bwe bulamu bwe bwonna.