Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
50 verses
1N'abagamba nti Mazima mbagamba nti Ku bano abayimiridde wano waliwo abamu abatalirega ku kufa n'akatono; okutuusa lwe baliraba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n'amaanyi.
2Awo ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana, n'agenda nabo ku lusozi oluwanvu bokka mu kyama: n'afuusibwa mu maaso gaabwe.
3Engoye ze ne zaakaayakana ne zitukula nnyo; so nga tewali mwozi ku nsi ayinza okuzitukuza bw'atyo.
4Awo Eriya ne Musa ne babalabikira; era baali boogera ne Yesu.
5Peetero n'addamu, n'agamba Yesu nti Labbi, kye kirungi ffe okubeera wano; kale tusiisire ensiisira ssatu; emu yiyo, n'emu ya Musa, n'emu ya Eriya.
6Kubanga yali tamanyi ky'anaddamu; kubanga baali batidde nnyo.
7Awo ekire ne kijja ne kibasiikiriza; eddoboozi ne lifuluma mu kire nti Ono ye Mwana wange omwagalwa: mumuwulire.
8Bwe baakebuka amangu ago, ne batalaba muntu nate wabula Yesu yekka nabo.
9Awo bwe baali bakka ku lusozi, n'abakuutira baleme okubuulirako omuntu bye balabye, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alizuukira mu bafu.
10Ne bakyekuuma ekigambo ekyo nga beebuuzaganya bokka nti Okuzuukira mu bafu kuliba kutya?
11Ne bamubuuza nga bagamba nti Abawandiisi boogera nti kigwana Eriya okusooka okujja.
12N'abagamba nti Eriya y'asooka okujja, n'alongoosa byonna: era kyawandiikirwa kitya Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi n'okunyoomebwa?
13Naye mbagamba nti Eriya yamala okujja, era baamukola buli kye baayagala, nga bwe kyamuwandiikirwa.
14Awo bwe baatuuka eri abayigirizwa be, ne balaba ekibiina kinene nga kibeetoolodde, n'abawandiisi nga babasokaasoka.
15Amangu ago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne beewuunya nnyo, ne baddukana gy'ali ne bamulamusa.
16N'ababuuza nti Mubasokaasoka lwaki?
17Omu mu kibiina n'amuddamu nti Omuyigiriza, nkuleetedde omwana wange, aliko dayimooni atayogera;
18buli gy'amutwala, amukuba ebigwo; abimba ejjovu, aluma amannyo, akonvuba: ŋŋambye abayigirizwa bo bamugobe; ne batayinza.
19N'abaddamu, n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza, ndituusa wa okubeera nammwe? ndituusa wa okubagumiikiriza? mumundeetere.
20Ne bamuleeta gy'ali: awo bwe yamulaba, amangu ago dayimooni n'amutaagulataagula nnyo; n'agwa wansi, ne yeekulungula, ng'abimba ejjovu.
21N'abuuza kitaawe nti Obulwadde buno kasookedde bumukwata bbanga ki? N'agamba nti Bwa mu buto.
22Emirundi mingi ng'amusuula mu muliro ne mu mazzi okumutta: naye oba ng'oyinza, tusaasire, otubeere.
23Yesu n'amugamba nti Oba ng'oyinza! byonna biyinzika eri akkiriza.
24Amangu ago kitaawe w'omwana n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Nzikirizza: saasira obutakkiriza bwange.
25Awo Yesu bwe yalaba ng'ekibiina kikuŋŋaana mbiro, n'aboggolera dayimooni, n'amugamba nti Ggwe dayimooni atayogera, era omuggavu w'amatu, nze nkulagira, muveeko, tomuddiranga nate n'akatono.
26Awo n'akaaba, n'amutaagula nnyo, n'amuvaako; n'afaanana ng'afudde; n'okugamba abalala bangi ne bagamba nti Afudde.
27Naye Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa; n'ayimirira.
28Awo bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza mu kyama nti Ffe tetwayinzizza kumugoba.
29N'abagamba nti Engeri eno teyinzika kuvaako lwa kigambo wabula olw'okusaba.
30Ne bavaayo, ne bayita mu Ggaliraaya, n'atayagala muntu yenna kutegeera.
31Kubanga yayigiriza abayigirizwa be n'abagamba nti Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abantu, balimutta; kale bw'alimala okuttibwa, era waliyita ennaku ssatu n'azuukira.
32Naye tebaategeera kigambo ekyo, ne batya okumubuuza.
33Ne batuuka e Kaperunawumu: awo bwe yali ng'ali mu nnyumba n'ababuuza nti Mubadde muwakana ki mu kkubo?
34Naye ne basirika: kubanga baali bawakana bokka na bokka mu kkubo nti ani omukulu.
35N'atuula, n'ayita ekkumi n'ababiri, n'abagamba nti Omuntu bw'ayagala okuba ow'olubereberye, anaabanga ku nkomerero ya bonna, era muweereza wa bonna.
36N'addira omwana omuto, n'amuyimiriza wakati mu bo: awo n'amuwambaatira n'abagamba nti
37Buli anakkirizanga omu ku baana abato abaliŋŋanga ono, mu linnya lyange, ng'akkirizza nze: na buli muntu yenna anzikiriza nze, takkiriza nze, wabula oli eyantuma.
38Awo Yokaana n'amugamba nti Omuyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba dayimooni mu linnya lyo; ne tumugaana, kubanga teyayita naffe.
39Naye Yesu n'agamba nti Temumugaananga: kubanga tewali muntu anaakolanga eky'amagero mu linnya lyange ate amangu ago n'anvuma.
40Kubanga atali mulabe waffe ng'ali ku lwaffe.
41Kubanga buli muntu anaabanywesanga mmwe ekikompe ky'amazzi kubanga muli ba Kristo, mazima mbagamba nti talibulwa mpeera ye n'akatono.
42Na buli muntu aneesittazanga omu ku abo abato abanzikiriza, waakiri oyo okusibibwa olubengo olunene mu bulago bwe asuulibwe mu nnyanja.
43Omukono gwo bwe gukwesittazanga, ogutemangako; waakiri ggwe okuyingira mu bulamu, ng'obuliddwako ekitundu, okusinga okugenda mu Ggeyeena ng'olina emikono gyombi, mu muliro ogutazikira;
44envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira.
45N'okugulu kwo bwe kukwesittazanga, okutemangako: waakiri ggwe okuyingira mu bulamu ng'obuliddwako okugulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amagulu gombi;
46envunyu yaabwe gye tefiira so n'omuliro teguzikira.
47N'eriiso lyo bwe likwesittazanga, oliggyangamu; waakiri ggwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli wa ttulu, okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena, ng'olina amaaso gombi;
48envunyu yaabwe gye tefiira, so n'omuliro teguzikira.
49Kubanga buli muntu alirungibwamu omuliro.
50Omunnyo mulungi: naye omunnyo bwe guggwaamu ensa mulizzaamu ki? Mmwe mubeere n'omunnyo munda wammwe, mutabagane mwekka na mwekka.