Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
42 verses
1N'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku dayimooni omubi, okumugobanga, n'okuwonyanga endwadde zonna n'obunafu bwonna.
2Abatume abo ekkumi n'ababiri, amannya gaabwe ge gano: eyasooka ye Simooni, ayitibwa Peetero, ne Andereya muganda we; Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we;
3Firipo, ne Battolomaayo; Tomasi, ne Matayo omuwooza; Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo;
4Simooni Omukananaayo, ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe.
5Yesu n'abatuma abo ekkumi n'ababiri n'ababuulirira, ng'agamba nti Temugendanga mu makubo g'ab'amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by'Abasamaliya;
6naye waakiri mugende eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri.
7Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti Obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.
8Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni: mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.
9Temubeeranga na zaabu, newakubadde effeeza, newakubadde ebikomo mu nkoba zammwe;
10so n'ensawo etambula, newakubadde ekkanzu ebbiri, newakubadde engatto, newakubadde omuggo: kubanga akola emirimu asaanira okuweebwa emmere ye.
11Naye buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw'ali asaana; musulanga omwo okutuusa lwe mulivaayo.
12Bwe munaayingiranga mu nju, mugiramusenga.
13Enju bw'esaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku yo: naye bw'etasaananga, emirembe gyammwe giddenga gye muli.
14Era omuntu bw'atabasembezanga newakubadde okuwulira ebigambo byammwe bwe muvanga mu nju eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey'omu bigere byammwe.
15Ddala mbagamba nti ensi ya Sodoma ne Ggomola eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okukira ekibuga ekyo.
16Laba, nze mbatuma ng'endiga wakati mu misege: kale mubanga n'amagezi ng'emisota, era mubanga ng'amayiba obutaba na bukuusa.
17Naye mwekuumanga abantu: kubanga balibawaayo mu nkiiko, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe balibakubiramu;
18era mulitwalibwa eri abaamasaza n'eri bakabaka okubalanga nze, okuba obujulirwa eri bo n'ab'amawanga.
19Naye bwe banaabawangayo, temweraliikiranga nti Tunaagamba tutya? nti Tunaayogera ki? kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera.
20Kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo gwa Kitammwe ye ayogerera mu mmwe.
21Ow'oluganda anaawangayo muganda we okufa, ne kitaawe omwana: n’abaana banaajeemeranga ababazaala, n’okubassa.
22Munaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange: naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, ye alirokoka.
23Bwe babagobanga mu kibuga ekyo, muddukira mu ky'okubiri: kubanga ddala mbagamba nti Temulibunya bibuga bya Isiraeri, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alijja.
24Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza, so n'omuddu tasinga mukama we.
25Kimumala omuyigirizwa okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga bayise nannyini nju Beeruzebuli, tebalisinzaawo abo abali mu nju ye?
26Kale temubatyanga: kubanga tewali kigambo ekyabikibwa, ekitalibikkulwa, newakubadde ekyakwekebwa, ekitalimanyibwa.
27Kye mbagambira mu kizikiza, mukyogereranga mu musana: kye muwulira mu kutu, mukibuuliriranga waggulu ku nnyumba.
28So temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu: naye mumutyenga ayinza okuzikiririza obulamu n'omubiri mu Ggeyeena.
29Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? era tewaliba n'emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi:
30era n'enviiri zammwe ez'oku mutwe zaabalibwa zonna.
31Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.
32Kale buli muntu yenna alinjatulira mu maaso g'abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
33Naye yenna alinneegaanira mu maaso g'abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
34Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi: sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala.
35Kubanga najja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nyazaala we;
36abalabe b'omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.
37Ayagala kitaawe oba nnyina okubasinza nze, tansaanira; ayagala mutabani oba muwala we okubasinza nze, tansaanira.
38N'oyo atakwata musalaba gwe n'agoberera ennyuma wange, tansaanira.
39Alaba obulamu bwe alibubuza; abuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.
40Akkiriza mmwe ng'akkirizza nze, akkiriza nze ng'akkirizza eyantuma.
41Akkiriza nnabbi mu linnya lya nnabbi aliweebwa empeera ya nnabbi; naye akkiriza omutuukirivu mu linnya ly'omutuukirivu aliweebwa empeera y'omutuukirivu.
42Era buli amuwa okunywa omu ku abo abatono ekikompe ky'amazzi amannyogovu kyokka, mu linnya ly'omuyigirizwa, mazima mbagamba nti empeera ye terimubula n'akatono.