Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
30 verses
1Awo olwatuuka Yesu bwe yamala okulagira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'avaayo n'agenda okuyigiriza n'okubuulira mu bibuga byabwe.
2Naye Yokaana bwe yawulirira mu kkomera ebikolwa bya Kristo; n'atuma abayigirizwa be,
3okumugamba nti Ggwe wuuyo ajja oba tulindirire mulala?
4Yesu n'addamu n'abagamba nti Muddeeyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mulaba:
5abazibye amaaso balaba, n'abalema batambula, n'abagenge balongoosebwa, n'abaggavu b’amatu bawulira, n'abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri.
6Naye yenna alina omukisa atalinneesittalako.
7Nabo bwe baagenda, Yesu n'asooka okwogera n’ebibiina ku Yokaana nti Kiki kye nwagenderera mu ddungu okutunuulira? olumuli olunyeenyezebwa n'empewo?
8Naye kiki kye mwagenderera okulaba? omuntu ayambadde ezinekaaneka? Laba, abambala ezinekaaneka baba mu nnyumba za bakabaka.
9Naye kiki kye mwagenderera? okulaba nnabbi? Weewaawo, mbagamba, era asingira ddala nnabbi.
10Oyo ye yawandiikwako nti Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo.
11Ddala mbagamba nti Tevanga mu abo abazaalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana Omubatiza: naye omuto mu bwakabaka obw'omu ggulu amusinga ye.
12Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okutuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'abawaguza babunyaga lwa maanyi.
13Kubanga bannabbi bonna n'amateeka baalagula okutuusa ku Yokaana.
14Era oba mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja.
15Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
16Naye nnaafaananya ki emirembe gino? Gifaanana n'abaana abato abatuula mu butale abayita bannaabwe,
17nga bagamba nti Twabafuuyira emirere, so nammwe temwazina; twabakubira ebiwoobe, so temwakaaba.
18Kubanga Yokaana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti Aliko dayimooni.
19Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi! Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa byago.
20N'asookera awo okubuulirira ebibuga mwe yakolera eby'amaanyi bye ebingi, kubanga tebyenenya.
21Zirikusanga ggwe Kolaziini! zirikusanga ggwe Besusayida! kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu.
22Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe.
23Naawe, Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? olikka e Magombe: kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodomu, singa weekiri ne kaakano.
24Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango ensi y'e Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga ggwe.
25Mu biro ebyo Yesu yaddamu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab'amagezi n'abakabakaba n'obibikkulira abaana abato:
26weewaawo, Kitange, kubanga bwe kityo bwe kyasiimibwa mu maaso go.
27Ebintu byonna byankwasibwa Kitange: so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumubikkulira.
28Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa nange nnaabawummuza.
29Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe.
30Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu.