Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Abafalisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja, ne bamukema ne bamusaba okubalaga akabonero akava mu ggulu.
2Naye n'addamu n'abagamba nti Bwe buba akawungeezi, mugamba nti Bunaaba bulungi: kubanga eggulu limyuse.
3N'enkya nti Wanaaba omuyaga leero: kubanga eggulu limyuse libindabinda. Mumanyi okwawula eggulu bwe lifaanana; naye temuyinza kwawula bubonero bwa biro?
4Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; so tebaliweebwa kabonero, wabula akabonero ka Yona. N'abaleka, n'agenda.
5Abayigirizwa ne bajja emitala w'eri, ne beerabira okutwala emigaati.
6Yesu n'abagamba nti Mutunuulire mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
7Ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti Kubanga tetuleese migaati.
8Yesu n'amanya n'agamba nti Mmwe abalina okukkiriza okutono, kiki ekibawakanya mwekka na mwekka kubanga temulina migaati?
9Temunnaba kutegeera, so temujjukira migaati etaano eri abo enkumi ettaano, n'ebibbo bwe byali bye mwakuŋŋaanya
10Era emigaati omusanvu eri abo enkumi ennya, n'ebisero bwe byali bye mwakuŋŋaanya?
11Ekibalobedde ki okutegeera nti sibagambiridde lwa migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
12Ne balyoka bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula okuyigiriza kw'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo.
13Awo, Yesu bwe yajja ku njuyi z'e Kayisaliya ekya Firipo, n'abuuza abayigirizwa be, ng'agamba nti Omwana w'omuntu abantu bamuyita batya?
14Ne bagamba nti Abalala bamuyita Yokaana Omubatiza; abalala nti Eriya: abalala nti Yeremiya, oba omu ku bannabbi.
15N'abagamba nti Naye mmwe mumpita mutya?
16Simooni Peetero n'addamu n'agamba nti Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.
17Yesu n'addamu n'amugamba nti Olina omukisa, Simooni Ba-Yona: kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.
18Nange nkugamba nti Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno: so n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza.
19Ndikuwa ebisumuluzo by'okwakabaka obw'omu ggulu: kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa mu ggulu: kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisumululibwa mu ggulu.
20Awo n'akuutira abayigirizwa baleme okubuulirako omuntu nti ye Kristo.
21Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n'abawandiisi, n'okuttibwa, ne ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa.
22Peetero n'amutwala, n'atanula okumunenya, ng'agamba nti Nedda, Mukama wange: ekyo tekirikubaako n'akatono.
23N'akyuka, n'agamba Peetero nti Dda ennyuma wange, Setaani, oli nkonge gye ndi: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.
24Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti Omuntu bw'ayagala okujja ennyuma wange, yeefiirize yekka yeetikke omusalaba gwe, angoberere.
25Kubanga buli ayagaIa okulokola obulamu bwe alibubuza: na buli alibuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.
26Kubanga omuntu kulimugasa kutya okulya ensi yonna, naye ng'afiiriddwa obulamu bwe? oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?
27Kubanga Omwana w'omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika be; n'alyoka asasula buli muntu nga bwe yakola.
28Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w'omuntu ng'ajja mu bwakabaka bwe.