Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
27 verses
1Ennaku omukaaga bwe zaayitawo Yesu n'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n'abalinnyisa ku lusozi oluwanvu bokka:
2n'afuusibwa mu maaso gaabwe: amaaso ge ne gamasamasa ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omusana.
3Laba, Musa ne Eriya ne babalabikira nga boogera naye.
4Peetero n'addamu n'agamba Yesu nti Mukama wange, kirungi ffe okubeera wano: bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu; emu yiyo, n'endala ya Musa, n'endala ya Eriya.
5Bwe yali ng'akyayogera, laba, ekire ekimasamasa ne kibasiikiriza: laba, eddoboozi ne liva mu kire, nga ligamba nti Ono ye Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo; mumuwulire.
6Abayigirizwa bwe baaliwulira, ne bagwa nga beevuunise, ne batya nnyo.
7Yesu n'ajja n'abakomako n'agamba nti Muyimuke, temutya.
8Ne bayimusa amaaso gaabwe, ne batalaba muntu, wabula Yesu yekka.
9Bwe baali nga bakka ku lusozi, Yesu n'abalagira ng'agamba nti Temubuulirako muntu bye mwolesebbwa, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alimala okuzuukira mu bafu.
10Abayigirizwa be ne bamubuuza, ne bagamba nti Kale kiki ekigambya abawandiisi nti Eriya kimugwanidde okusooka okujja?
11N'addamu n'agamba nti Eriya ajja ddala, alirongoosa byonna:
12naye mbagamba nti Eriya amaze okujja, nabo tebaamumanya, naye baamukola bwe baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'omuntu alibonyaabonyezebwa bo.
13Awo abayigirizwa ne bategeera nti yayogera nabo ku Yokaana Omubatiza.
14Bwe baatuuka eri ekibiina, omuntu n'ajja gy'ali, n'amufukaamirira, ng'agamba nti
15Mukama wange, musaasire omwana wange: kubanga agwa ensimbu, zimubonyaabonya nnyo: kubanga emirundi mingi ng'agwa mu muliro, era emirundi mingi mu mazzi.
16Ne mmuleetera abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya.
17Yesu n'addamu n'agamba nti Mmwe ab'emirembe egitakkiriza emikyamu, ndituusa wa okubeera nammwe? ndituusa wa okubagumiikiriza? mumundeetere wano.
18Yesu n'amuboggolera; dayimooni n'amuvaako: omulenzi n'awona okuva mu kiseera ekyo.
19Awo abayigirizwa ne bajja eri Yesu kyama, ne bagamba nti Kiki ekitulobedde ffe okuyinza okumugoba?
20N'abagamba nti Olw'okukkiriza kwammwe okuba okutono: kubanga ddala mbagamba nti Singa mulina okukkiriza okwenkana ng'akaweke ka kaladaali, bwe muligamba olusozi luno nti Vaawo wano genda wali; kale luligenda; so singa tewali kigambo kye mutayinza.
21Naye kyokka eky'engeri eno tekiyinza kuvaawo awatali kusaba na kusiiba.
22Bwe baali nga bakyatudde e Ggaliraaya, Yesu n'abagamba nti Omwana w'omuntu agenda kuweebwayo mu mikono gy'abantu;
23balimutta, ne ku lunaku olw'okusatu alizuukizibwa. Ne banakuwala nnyo.
24Bwe baatuuka e Kaperunawumu, abantu abasolooza ediderakima ne bajja eri Peetero, ne bagamba nti Mukama wammwe tawa diderakima?
25N'agamba nti Awa. Bwe yayingira mu nju, Yesu n'amwesooka ng'agamba nti Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi bawooza oba basolooza bantu ki? baana baabwe nantiki bannaggwanga?
26N'agamba nti Bannaggwanga. Yesu n'amugamba nti Kale abaana ba ddembe.
27Naye, tuleme okubasittaza, genda ku nnyanja, osuule eddobo, onnyulule ekyennyanja ekinaasooka okubbulukuka; bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoolabamu esutateri: otwale eyo, ogibawe ku bwange ne ku bubwo.