Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
35 verses
1Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu?
2N'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe,
3n'agamba nti Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka okufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.
4Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.
5Na buli alisembeza omwana omuto omu ng'ono mu linya lyange ng'asembezezza nze:
6naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja.
7Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza!
8Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko okusuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi.
9Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi.
10Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu.
11Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula.
12Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n’agenda ku nsozi, n’anoonya eyo ebuzeeko?
13Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitabuze.
14Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.
15Muganda wo bw'akukola obubi genda omubuulirire ggwe naye mwekka: bw'akuwulira ng'ofunye muganda wo.
16Naye bw'atawulira, twala omulala naawe oba babiri era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kikakate.
17Era bw'agaana okuwulira abo buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.
18Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu: era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu.
19Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu.
20Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.
21Awo Peetero n'ajja, n'amugamba nti Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? okutuusa emirundi musaanvu?
22Yesu n'amugamba nti Sikugamba nti Okutuusa emirundi musanvu; naye nti Okutuusa emirundi ensanvu emirundi omusanvu.
23Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyali kabaka, eyayagala okubala omuwendo n'abaddu be.
24Bwe yasooka okubala, ne bamuleetera omu, gw'abanja ettalanta akakumi.
25Naye kubanga teyalina kya kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja liggwe.
26Awo omuddu n'agwa wansi n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mmanja npola, nange ndikusasula byonna.
27Mukama w'omuddu oyo n'amusaasira, n'amuta, n'amusonyiwa ebbanja.
28Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, gwe yali abanja eddinaali ekikumi: n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti Sasula ebbanja lyange.
29Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'agamba, nti Mmanja mpola, nange ndikusasula.
30N'atakkiriza: naye n'agenda n'amuteeka mu kkomera, amale okusasula ebbanja.
31Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaddeyo.
32Awo mukama we n'amuyita n'amugamba nti Ggwe omuddu omubi, nakusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira:
33naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe?
34Mukama we n'asunguwala, n'amuwa mu bambowa, amale okusasula ebbanja lyonna.
35Bw'atyo Kitange ali mu ggulu bw'alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we.