Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
30 verses
1Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, n'ava e Ggaliraaya, n'ajja ku mbibi y'e Buyudaaya emitala wa Yoludaani;
2ebibiina ebinene ne bimugoberera; n'abawonyeza eyo.
3Abafalisaayo ne bajja gy'ai, ne bamukema, nga bagamba nti Omuntu ayinza okugoba mukazi we okumulanga buli kigambo?
4N'addamu n'agamba nti Temusoma nti oyo eyabakola olubereberye nga yabakola omusajja n'omukazi,
5n'agamba nti Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu?
6obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.
7Ne bamugamba nti Kale, Musa ekyamulagiza ki okumuwa ebbaluwa ey'okwawukana, alyoke amugobe?
8N'abagamba nti Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe Musa kyeyava akkiriza mugobenga bakazi bammwe: naye okuva ku lubereberye tekyali bwe kityo.
9Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw'obwenzi, n'awasa omulala, ng'ayenze: n'oyo awasa eyagobebwa ng'ayenze.
10Abayigirizwa ne bamugamba nti Ebigambo eby'omusajja ne mukazi we bwe biba bwe bityo, si kirungi okuwasa.
11N'abagamba nti Abantu bonna tebayinza kukkiriza kigambo ekyo, wabula abakiweebwa.
12Kubanga waliwo abalaawe abazaalibwa bwe batyo okuva mu mbuto za bannyaabwe; waliwo n'abalaawe abalaayibwa abantu: waliwo n'abalaawe, abeeraawa bokka olw'obwakabaka obw'omu ggulu: Ayinza okukikkiriza, akikkirize.
13Awo ne bamuleetera abaana abato, abasseeko emikono gye, asabe: abayigirizwa ne babajunga.
14Naye Yesu n'agamba nti Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi: kubanga abali ng’abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.
15N'abassaako emikono n'avaayo.
16Laba, omuntu n'ajja gy'ali n'agamba nti Mukama wange, ndikola kigambo ki ekirungi, mbeere n'obulamu obutaggwaawo?
17N'amugamba nti Kiki ekikumbuuzisa Eky'ekigambo ekirungi? Omulungi ali Omu: naye bw'oyagala okuyingira mu bulamu, wuliranga amateeka.
18N'amugamba nti Galuwa? Yesu n'agamba nti Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga,
19Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko: era, Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.
20Omulenzi n'amugamba nti Ebyo byonna nabikwata: ekimpeebuuseeko ki ate?
21Yesu n'amugamba nti Bw'oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebibyo, ogabire abaavu, oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje, ongoberere.
22Omulenzi bwe yawulira ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde: kubanga yali alina obugagga bungi.
23Yesu n'agamba abayigirizwa be nti Mazima mbagamba nti Kizibu omuntu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu.
24Era nate mbagamba nti Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
25Abayigirizwa bwe baawulira ne beewuunya nnyo, nga bagamba nti Kale ani ayinza okulokolebwa?
26Yesu n'abatunuulira n'abagamba nti Mu bantu ekyo tekiyinzika; naye Katonda ayinza byonna.
27Awo Peetero n'addamu n'amugamba nti Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera; kale tuliba na ki?
28Yesu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Mmwe abangoberera, mu mazaalibwa ag'okubiri Omwana w'omuntu bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye, nammwe mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, nga musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri.
29Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.
30Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab’oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.