Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
75 verses
1Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti
2Mumanyi nti olw'ebbiri walibaawo Okuyitako, n'Omwana w'omuntu aliweebwayo okukomererwa.
3Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaanira mu kigango kya kabona asinga obukulu, eyayitibwa Kayaafa;
4ne bateeseza wamu Yesu okumukwasa amagezi, bamutte.
5Naye ne bagamba nti Tuleme okumukwatira ku lunaku olukulu, abantu baleme okukaayana.
6Naye Yesu bwe yali mu Bessaniya, mu nju ya Simooni omugenge,
7omukazi n'ajja gy'ali, eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi ennyo, n'agamufuka ku mutwe, ng'atudde alya.
8Naye abayigirizwa bwe baalaba, ne banyiiga ne bagamba nti Gafudde ki gano?
9Kubanga gano singa gatundiddwa gandivuddemu ebintu bingi, okuwa abaavu.
10Naye Yesu bwe yategeera n'abagamba nti Munakuwaliza ki omukazi? kubanga ankoze ekigambo ekirungi.
11Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; naye temuli nange bulijjo.
12Kubanga bw'afuse amafuta gano ku mubiri gwange, anziraze okunziika.
13Mazima mbagamba nti Enjiri eno buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.
14Awo omu ku abo ekkumi n'ababiri, eyayitibwa Yuda Isukalyoti, n'agenda eri bakabona abakulu,
15n'agamba nti Mukkiriza kumpa ki, nange ndimuwaayo gye muli? Ne bamugerera ebitundu bya ffeeza amakumi asatu.
16N'asookera awo okunoonya ebbanga bw'anaamuwaayo.
17Naye ku lunaku olusookerwako olw'emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Oyagala tuteekereteekere wa Okuyitako gy'onookuliira?
18N'agamba nti Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti Omuyigiriza agambye nti Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange.
19Abayigirizwa ne bakola nga Yesu bw'abalagidde; ne bateekateeka Okuyitako.
20Awo obudde bwe bwawungeera, n'atuula okulya n'abayigirizwa ekkumi n'ababiri;
21era baali balya; n'agamba nti Mazima mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.
22Ne banakuwala nnyo, ne batanula kinnoomu okumugamba nti Mukama wange, ye nze?
23Naye n'addamu n'agamba nti Oyo akozezza awamu nange mu kibya, ye anandyamu olukwe.
24Omwana w'omuntu agenda, nga bwe yawandiikirwa: naye zisanze omuntu oyo anaalyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi eri oyo singa teyazaalibwa omuntu oyo.
25Yuda, eyamulyamu olukwe, n'addamu n'agamba nti Labbi, ye nze? N'amugamba nti Ggwe oyogedde.
26Era baali bakyalya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu; n'awa abayigirizwa, n'agamba nti Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange.
27N'atoola ekikompe, ne yeebaza, n'abawa, ng'agamba nti Munywe ku kino mwenna;
28kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi.
29Naye mbagamba nti Sirinywa n'akatono okusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya awamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.
30Bwe baamala okuyimba ne bafuluma okugenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
31Awo Yesu n'abagamba nti Mmwe mwenna muneesittala ku lwange ekiro kino: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n'endiga ez'omu kisibo zirisaasaanyizibwa.
32Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.
33Naye Peetero n'addamu n'amugamba nti Bonna bwe baneesittala ku lulwo, nze seesittale n'akatono.
34Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti Mu kiro kino, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.
35Peetero n'amugamba nti Newakubadde nga kiiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono. N'abayigirizwa bonna ne boogera bwe batyo.
36Awo Yesu n'atuuka nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n'agamba abayigirizwa be nti Mutuule wano, ŋŋende eri nsabe.
37N'atwala Peetero n'abaana ba Zebbedaayo bombi, n'atanula okunakuwala n'okweraliikirira ennyo.
38Awo n'abagamba nti Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi, zigenda kunzita : mubeere wano, mutunule nange.
39N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti Ai Kitange, ekikompe kino kinveeko, oba kiyinzika: naye si nga nze bwe njagala wabula nga ggwe bw’oyagala.
40Nadda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti Kazzi temuyinzizza kutunula nange n'essaawa emu?
41Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala naye omubiri gwe munafu.
42Nate n'agenda omulundi ogw'okubiri, n'asaba, ng'agamba nti Ai Kitange, oba nga kino tekiyinza kunvaako, wabula nze okukinywa, ky'oyagala kikolebwe.
43N'ajja nate n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambagga.
44N'abaleka nate, n'agenda, n'asaba omulundi ogw'okusatu, n'ayogera nate ebigambo bimu na biri.
45Awo n'ajja eri abayigirizwa, n'abagamba nti Mwebakire ddala kaakano, muwummule: laba, ekiseera kinaatera okutuuka, n'Omwana w'omuntu aweereddwayo mu mikono gy'abalina ebibi.
46Muyimuke tugende: laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.
47Yali akyayogera, laba, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri, n'ajja, ng'alina ebibiina bingi ebirina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu n'abakadde b'abantu.
48Naye oyo amulyamu olukwe yabawa akabonero, ng'agamba nti Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo: mumukwate.
49Amangu ago n'ajja awali Yesu, n'agamba nti Mirembe, Labbi; n'amunywegera nnyo.
50Yesu n'amugamba nti Munnange, kola ky'ojjiridde. Awo ne bajja, Yesu ne bamussaako emikono, ne bamukwata.
51Laba, omu ku abo abaali ne Yesu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu.
52Awo Yesu n'amugamba nti Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.
53Oba olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n'ampeereza kaakano bamalayika okusinga liigyoni ekkumi n'ebbiri?
54Kale binaatuukirira bitya ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe bityo?
55Mu kiseera ekyo Yesu n'agamba ebibiina nti Muli ng'abajjiridde omunyazi n'ebitala n'emiggo okunkwata? Nnatuulanga buli lunaku mu yeekaalu nga njigiriza, ne mutankwata.
56Naye kino kyonna kituuse, bannabbi bye baawandiika era bituukirizibwe. Awo abayigirizwa bonna ne bamwabulira, ne badduka.
57Ne bali abaakwata Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiisi n'abakadde gye baakuŋŋaanira.
58Naye Peetero n'amuvaako ennyuma wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira.
59Naye bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulirwa obw'obulimba ku Yesu, balyoke bamutte;
60ne batabulaba, newakubadde ng'abajulirwa ab'obulimba bangi abajja. Naye oluvannyuma ne bajja babiri,
61ne bagamba nti Ono yagamba nti Nnyinza okumenya yeekaalu ya Katonda, n'okugizimbira ennaku ssatu.
62Kabona asinga obukulu n'ayimirira, n'amugamba nti Toyanukula n'akatono? kigambo ki bano kye bakulumiriza?
63Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amugamba nti Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.
64Yesu n'amugamba nti Oyogedde: naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajjira ku bire eby'eggulu.
65Awo kabona asinga obukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti Avvodde Katonda: twagalira ki nate abajulirwa? laba, muwulidde kaakano obuvvoozi bwe:
66mulowooza mutya? Ne baddamu ne bagamba nti Agwanidde kufa.
67Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso ge, ne bamukuba ebikonde: abalala ne bamukuba empi
68nga bagamba nti Tulagule Kristo: ani akukubye?
69Naye Peetero yali atudde bweru mu kigango: omuwala n'ajja gy'ali, n'agamba nti Naawe wali wamu ne Yesu Omugaliraaya.
70Naye ne yeegaanira mu maaso ga bonna ng'agamba nti Ky'ogamba sikimanyi.
71Naye bwe yafuluma okutuuka mu kisasi, omuwala omulala n'amulaba n'agamba abantu abaali awo nti N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaaleesi.
72Ne yeegaana nate, n'alayira nti Omuntu oyo simumanyi.
73Newayitawo ebbanga ttono, abaali bayimiridde awo ne bajja ne bagamba Peetero nti Mazima naawe oli munnaabwe; kubanga enjogera yo ekutegeezezza.
74Awo n'atanula okukolima n'okulayira nti Omuntu oyo simumanyi. Amangu ago enkoko n'ekookolima.
75Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu kye yagamba nti Enkoko eneeba tennaba kukookolima ononneegaanira emirundi esatu. N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga.