Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
66 verses
1Naye obudde bwe bwakya bakabona abakulu bonna n'a bakadde b'abantu ne bateesa wamu ebya Yesu okumutta:
2ne bamusiba, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato ow'essaza.
3Awo Yuda, eyamulyamu olukwe, bwe yalaba ng'omusango gumusinze, ne yejjusa, n'addiza bakabona abakulu n'abakadde ebitundu ebyo amakumi asatu ebya ffeeza
4ng'agamba nti Nnayonoona okulyamu olukwe omusaayi ogutalina kabi. Naye bo ne bamugamba nti Guno guli ku ffe? musango gwo.
5Effeeza n'azisuula mu yeekaalu n'afuluma, n'agenda yeetuga.
6Naye bakabona abakulu ne batwala ebitundu biri ebya ffeeza, ne bagamba nti Kya muzizo okubiteeka mu ggwanika lya Katonda, kubanga muwendo gwa musaayi.
7Ne bateesa, ne bazigulamu olusuku lw’omubumbi, okuziikangamu abagenyi.
8Olusuku luli kyeruva luyitibwa olusuku lw'omusaayi, ne kaakano.
9Awo lwe kyatuukirira ekyayogererwa mu nnabbi Yeremiya, ng'agamba nti Ne batwala ebitundu ebya ffeeza amakumi asatu, omuwendo gw'oyo gwe baalamula omuwendo, abantu ku baana ba Isiraeri gwe baalamula;
10ne babiggyamu olusuku lw'omubumbi, nga Mukama bwe yandagira.
11Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'ow'essaza: ow'essaza n'amubuuza ng'agamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya? Yesu n'amugamba nti Oyogedde.
12Bakabona abakulu n'abakadde bwe baamuloopa, n'ataddamu n'akatono.
13Awo Piraato n'amugamba nti Towulira bigambo bino bye bakulumiriza bwe biri?
14Naye teyamuddamu na kigambo na kimu: ow'essaza n'okwewuunya ne yeewuunya nnyo.
15Naye ku mbaga ow'essaza yalina empisa okusumululiranga ekibiina omusibe omu, gwe baayagalanga.
16Era mu biro ebyo baalina omusibe omumanyi, ayitibwa Balaba.
17Awo bwe baakuŋŋaana, Piraato n'abagamba nti Aluwa gwe mwagala mmubasumululire? Balaba, oba Yesu ayitibwa Kristo?
18Kubanga yamanya nga bamuweesezzaayo buggya.
19Naye bwe yatuula ku ntebe ey'emisango, mukazi we n'amutumira, ng'agamba nti Omuntu oyo omutuukirivu tomukola kintu n'akatono: kubanga nnalumiddwa leero bingi mu kirooto ku lulwe.
20Naye bakabona abakulu n'abakadde ne babuulirira ebibiina okusaba Balaba, bazikirize Yesu.
21Naye ow'essaza n'addamu n'abagamba nti Ku abo bombi aluwa gwe mwagala mmubasumululire? Ne bagamba nti Balaba.
22Piraato n'abagamba nti Kale nnaakola ntya Yesu ayitibwa Kristo? Bonna ne bagamba nti Akomererwe.
23Naye n'agamba nti Lwaki? ekibi ky'akoze kiruwa? Naye ne bakaayana nnyo, ne bagamba nti Akomererwe.
24Naye Piraato bwe yalaba nga taasobole n'akatono, era nga bayinze okukaayana, n'addira amazzi, n'anaaba mu ngalo mu maaso g'ekibiina ng'agamba nti Nze siriiko kabi olw'omusaayi gw'omuntu ono omutuukirivu: musango gwammwe.
25Abantu bonna ne baddamu ne Bagamba nti Omusaayi gwe gubeere ku ffe, ne ku baana baffe.
26Awo n'abasumululira Balaba : naye Yesu n'amukuba enkoba n'alyoka amuwaayo okukomererwa.
27Awo basserikale b'ow'essaza ne batwala Yesu mu kigango eky'emisango, ne bamukuŋŋaanyizaako ekitongole kyonna.
28Ne bamwambula, ne bamwambaza olugoye olumyufu.
29Ne baluka engule ey'amaggwa, ne bagissa ku mutwe gwe, n'olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo; ne bafukamira mu maaso ge, ne bamuduulira, nga bagamba nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!
30Ne bamuwandira amalusu, ne batoola olumuli luli ne bamukuba mu mutwe.
31Awo bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulako olugoye, ne bamwambaza ebyambalo bye, ne bamutwala okumukomerera.
32Naye bwe baali bafuluma, ne basisinkana omuntu Omukuleene, erinnya lye Simooni: ne bamuwaliriza oyo yeetikke omusalaba gwe.
33Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo kifo kya kiwanga,
34ne bamuwa omwenge okunywa ogutabuddwamu omususa: naye bwe yalegako, n'atayagala kunywa.
35Bwe baamala okumukomerera, ne bagabana ebyambalo bye, nga bakuba akalulu;
36ne batuula awo ne bamutunuulira.
37Ne bassa waggulu ku mutwe gwe omusango gwe oguwandiikiddwa nti ONO YE YESU KABAKA W'ABAYUDAAYA.
38Awo abanyazi babiri ne bakomererwa naye, omu ku mukono ogwa ddyo, omulala ku gwa kkono.
39N'abaali bayita ne bamuvuma, nga banyeenya emitwe gyabwe,
40nga bagamba nti Ggwe amenya yeekaalu, agizimbira ennaku essatu, weerokole: oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musalaba okke.
41Bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakadde ne baduula bwe batyo, nga bagamba nti
42Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka. Ye Kabaka wa Isiraeri; ave kaakano ku musalaba, naffe tunaamukkiriza.
43Yeesiga Katonda; amulokole kaakano, oba amwagala: kubanga yagamba nti Ndi Mwana wa Katonda.
44Abanyazi abaakomererwa naye era nabo ne bamuvuma bwe batyo.
45Naye okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda.
46Obudde bwe bwatuuka ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba nti Eri, Eri, lama sabakusaani? amakulu gaakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?
47Naye abalala abaali bayimiridewo, bwe baawulira, ne bagamba nti Ono ayita Eriya.
48Amangu ago munnaabwe omu n'addukana, n'atoola ekisuumwa, n'akijjuza omwenge omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'amunywesa.
49Naye abalala ne bagamba nti Leka tulabe nga Eriya anajja okumulokola.
50Naye Yesu n'ayogerera nate waggulu n'eddoboozi ddene, n'ata omwoyo gwe.
51Laba, eggigi lya yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne zaatika:
52entaana ne zibikkuka; emirambo mingi egy'abatukuvu abaali beebase ne gizuukizibwa;
53ne bava mu ntaana bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, abantu bangi ne babalaba.
54Naye omwami w'ekitongole, na bali abaali naye nga batunuulira Yesu, bwe baalaba ekikankano, n'ebigambo ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti Mazima ono abadde Mwana wa Katonda.
55Waaliwo n'abakazi bangi abaayimirira ewala nga balengera, abaayitanga ne Yesu okuva e Ggaliraaya, abaamuweerezanga:
56mu abo mwalimu Malyamu Magudaleene, ne Malyamu nnyina Yakobo ne Yose, ne nnyina w'abaana ba Zebbedaayo.
57Naye obudde bwali buwungeera, n'ajja omuntu omugagga, eyava Alimasaya, erinnya lye Yusufu, era naye yali muyigirizwa wa Yesu:
58oyo n'agenda eri Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. Awo Piraato n'alagira okugumuwa.
59Yusufu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu bafuta enjeru,
60n'aguteeka mu ntaana ye empya, gye yasima mu lwazi: n'ayiringisa ejjinja ddene n'alissa ku mulyango gw'entaana, n'agenda.
61Waaliwo Malyamu Magudaleene, ne Malyamu ow'okubiri, nga batudde mu maaso g'entaana.
62Naye enkya, lwe lunaku olwaddirira olw'Okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋaanira ewa Piraato,
63ne bagamba nti Omwami, tujjukidde omulimba oyo eyagamba ng'akyali mulamu nti Ennaku bwe ziriyitawo essatu ndizuukira.
64Kale lagira bakuumire ddala amalaalo okutuusa ku lunaku olw'okusatu, abayigirizwa be batera okujja okumubba, bagambe abantu nti Azuukidde mu bafu: era okukyama okw'oluvannyuma kulisinga kuli okwasooka.
65Piraato n'abagamba nti Mulina abakuumi: mugende, mugakuumire ddala nga bwe muyinza.
66Nabo ne bagenda, ne bagakuumira ddala amalaalo, ejjinja ne balissaako akabonero, n'abakuumi nga weebali.