Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Naye olunaku olwa ssabbiiti bwe lwali lugenda okuggwaako, ng'olunaku olw'olubereberye mu nnaku omusanvu lunaatera okukya, Malyamu Magudaleene ne Malyamu ow'okubiri ne bajja okulaba amalaalo.
2Laba, ne wabaawo ekikankano ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja okuliggyawo, n'alituulako.
3Naye ekifaananyi kye kyali nga kumyansa, n'engoye ze zaali zitukula ng'omuzira:
4era entiisa ye n'ekankanya abakuumi, ne baba ng'abafudde.
5Naye malayika n'addamu n'agamba abakazi nti Mmwe temutya: kubanga mmanyi nga munoonya Yesu eyakomererwa.
6Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo Mukama we yagalamira.
7Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti Azuukidde mu bafu; laba, abakulembera okugenda e Ggaliraaya; gye mulimulabira: laba, mbabuulidde.
8Ne bava mangu ku ntaana, n'entiisa n'essanyu lingi, ne baddukana okubuulira abayigirizwa be.
9Laba, Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti Mirembe. Ne bajja ne bamukwata ebigere, ne bamusinza.
10Awo Yesu n'abagamba nti Temutya: mugende mubuulire baganda bange bagende e Ggaliraaya, gye balindabira.
11Naye bwe baali bagenda, laba abakuumi abamu ne bajja mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu byonna ebibaddeyo.
12Ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa wamu, ne babaweera basserikale effeeza nnyingi,
13ne bagamba nti Mugambanga nti Abayigirizwa be bajja ekiro, ne bamubba ffe nga twebase.
14Naye ekigambo kino bwe kiribuulirwa ow'essaza, ffe tulimuwooyawooya, nammwe tulibaggyako omusango.
15Nabo ne batwala effeeza, ne bakola nga bwe baaweererwa: ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, okutuusa leero.
16Naye abayigirizwa ekkumi n'omu ne bagenda e Ggaliraaya, ku lusozi Yesu gye yabalagira.
17Bwe baamulaba ne bamusinza: naye abalala ne babuusabuusa.
18Yesu n'ajja n'ayogera nabo, n'agamba nti Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.
19Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu;
20nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.