Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Naye mu nnaku ez'oluvannyuma olulituuka olusozi olw'ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y'ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu.
2Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n'eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby'enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.
3Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag'amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n'amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.
4Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga; kubanga akamwa ka Mukama w'eggye ke kakyogedde.
5Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n'emirembe.
6Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuŋŋaanya omukazi awenyera, era ndireeta oyo agobebwa n'oyo gwe nnalabisa ennaku;
7era ndifuula oyo eyawenyera ekitundu ekyasigalawo n'oyo eyasuulibwa ewala ndimufuula eggwanga ery'amaanyi; era Mukama anaabafugiranga ku lusozi Sayuuni, okusooka kaakano era n'emirembe gyonna,
8Era naawe, ggwe ekigo eky'ekisibo, akasozi ak'omuwala wa Sayuuni, kulituuka gy'oli; weewaawo; okufuga okw'edda kulidda, obwakabaka obw'omuwala wa Yerusaalemi.
9Lwaki nno okukaaba ennyo? tewali kabaka gy'oli, omuteesa wo abula? obubalagaze ne bukukwata nga omukazi alumwa okuzaala.
10Lumibwa, sindika, ggwe omuwala wa Sayuuni, nga omukazi alumwa okuzaala; kubanga kaakano oliva mu kibuga, olisiisira ku ttale, era olituuka e Babulooni; eyo gy'olirokokera; eyo Mukama gy'alikununulira mu mukono gw'abalabe bo.
11Ne kaakano amawanga mangi agakuŋŋaana okulwana naawe, agoogera nti Ayonooneke, era amaaso gaffe gatunuulire ebyo bye gaagala nga bituuse ku Sayuuni.
12Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwea; kubanga bakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'eŋŋaano ku gguuliro lye.
13Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaamenya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n'ebintu byabwe eri Mukama w'ensi zonna.