Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
15 verses
1Kaakano oneekuŋŋaanya bibiina bibiina, ggwe omuwala w'ebibiina; atuzingizizza ffe; balikuba oluyi omulamuzi wa Isiraeri n'omuggo.
2Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omuto okuba mu nkumi za Yuda, mu ggwe mwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu Isiraeri; okutambulatambula kwe kwa dda na dda, emirembe nga teginnabaawo.
3Kyaliva abawaayo okutuusa ku biro alumwa okuzaala lw'alizaala: kale baganda be abasigalawo balikomawo eri abaana ba Isiraeri.
4Naye aliyimirira aliriisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu bukulu obw'erinnya lya Mukama Katonda we; era balibeerera awo; kubanga mu nnaku ezo anaabanga mukulu okutuusa ku nkomerero z’ensi.
5Era omuntu oyo aliba mirembe gyaffe; Omwasuli bw'aliyingira mu nsi y'ewaffe, bw'alitambula mu mayumba gaffe, kale tulimuyimusizaako abasumba musanvu, n’abantu munaana ab'ekitiibwa.
6Nabo balyonoona ensi ya Asuli n’ekitala era ensi ya Nimuloodi baligyonoona bwe baliba nga bayingiramu; naye alitulokola eri Omwasuli bw'alituuka mu nsi y'ewaffe era bw'alitambula mu nsalo z'ewaffe.
7Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, ng'empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebazirwisaawo.
8Era aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga, wakati w'abantu abangi, ng'empologoma mu nsolo ez'omu kibira, ng'empologoma ento mu bisibo by'endiga; bw'eyitamu, erinnyirira era etaagulataagula so tewali mulokozi.
9Omukono gwo guyimuke ku balabe bo; n'abakukyawa bonna bazikirire.
10Era kiriba ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuggyamu wakati embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go;
11era ndizikiriza ebibuga eby'omu nsi y'ewammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna;
12era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na baganga nate;
13era ndikuggyamu wakati ebifaananyi byo ebyole n'empagi zo; so tolisinza nate emirimu egy'engalo zo.
14Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo.
15Era ndiwalana eggwanga n'obusungu n'ekiruyi ku mawanga agatawulira.